
12
1Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera 212:2 Yer 5:21, Ez 2:5, Mat 13:13nti Omwana w’omuntu, obeera wakati mu nnyumba eyo enjeemu abalina amaaso ag’okulaba so tebalaba, abalina amatu ag’okuwulira so tebawulira; kubanga nnyumba njeemu. 312:3 Yer 36:3Kale, ggwe omwana w’omuntu, weetegekere ebintu eby’obuwaŋŋanguse, ositule okusenguka misana bo nga balaba; era olisenguka mu kifo kyo n’odda mu kifo ekirala bo nga balaba: mpozzi balirowooza, newakubadde nga nnyumba njeemu. 4Era oliggyamu ebintu misana bo nga balaba, ng’ebintu eby’obuwaŋŋanguse: era olivaamu wekka akawungeezi bo nga balaba, ng’abantu bwe bavaamu abagobebwa ewaabwe. 5Sima ekisenge bo nga balaba, oyiseemu ebintu. 612:6 Ez 4:3Bisitulire ku kibegabega kyo bo nga balaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri. 7Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: naggyamu ebintu byange emisana ng’ebintu eby’obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekisenge n’omukono gwange; ne mbiggyamu ekizikiza nga kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bo nga balaba. 8Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 912:9 Ez 24:19nti Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti Okola ki? 1012:10 2 Byom 36:11-13Bagambe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n’ennyumba yonna eya Isiraeri be balimu. 1112:11 Ez 24:24Yogera nti Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa ewaabwe okugenda mu busibe. 1212:12 2 Bassek 25:4, Yer 39:4N’omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye ekizikiza nga kikutte n’afuluma; balisima mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka ku maaso ge, kubanga taliraba ttaka n’amaaso ge. 1312:13 2 Bassek 25:7, Yer 52:11, Ez 17:20Era ndimusuulako ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey’Abakaludaaya: era naye talikiraba, newakubadde ng’alifiira eyo. 1412:14 2 Bassek 25:5, Ez 5:2,10Era ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n’ebibiina bye byonna; era ndisowola ekitala ekiribagoberera. 15Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi. 1612:16 Ez 6:8Naye ndirekawo ku bo abasajja batono abaliwona ekitala n’enjala ne kawumpuli; balyoke babuulirenga emizizo gyabwe gyonna mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga nze Mukama.
17Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 1812:18 Ez 4:10,11nti Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, onywe amazzi ng’ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab’omu nsi, 1912:19 Ez 4:16; 7:23nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n’ensi ya Isiraeri nti Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekebwewo byonna ebirimu olw’ekyejo ky’abo bonna abatuulamu. 2012:20 Ez 6:6N’ebibuga ebibeerwamu birizisibwa, n’ensi eriba matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.
21Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2212:22 Is 5:19, Ez 11:3, 2 Peet 3:4nti Omwana w’omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti Ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula? 2312:23 Ez 7:7,12Kale bagambe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ndikomya olugero olwo, so tebalirugera nate mu Isiraeri okuba olugero; naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, n’okutuukiriza buli kwolesebwa. 2412:24 Ez 13:6,7,23Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa okw’obwereere newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri. 2512:25 Is 13:22; 55:11, Ez 12:2Kubanga nze Mukama; ndyogera n’ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ai ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.
26Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2712:27 Am 6:3nti Omwana w’omuntu, laba, ab’omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby’ebiro ebikyali ewala. 28Kale bagambe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda.