
11
111:1 Kuv 12:31,33,39Mukama n’amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw’alibaleka, mazima alibagobera ddala muno. 211:2 Kuv 3:22; 12:35Yogera kaakano mu matu g’abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n’ebintu ebya zaabu. 311:3 Kuv 3:21; 12:36Mukama n’abawa abantu okwagalibwa mu maaso g’Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey’e Misiri, mu maaso g’abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g’abantu.
411:4,5 Kuv 12:12,29Musa n’ayogera nti Bw’atyo Mukama bw’ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w’e Misiri: 5n’ababereberye bonna ab’omu nsi ey’e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey’obwakabaka okutuuka ku mubereberye w’omuzaana ali ennyuma w’olubengo; n’ebibereberye byonna eby’ebisibo. 611:6 Am 5:16,17Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey’e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno. 711:7 Kuv 8:22, Yos 10:21Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo: mulyoke mumanye Mukama bw’ayawula wakati w’Abamisiri ne Isiraeri. 8Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n’abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N’ava eri Falaawo n’obusungu bungi.
911:9 Kuv 7:3,4Mukama n’amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby’amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey’e Misiri. 1011:10 Kuv 4:21Musa ne Alooni ne bakola eby’amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.