
7
1Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga wamu ne Eseza kaddulubaale. 27:2 Es 5:3,6; 9:12Awo kabaka n’agamba nate Eseza ku lunaku olw’okubiri nga batudde ku mbaga ey’omwenge nti Kiki ky’osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaatuukirizibwa. 3Awo Eseza kaddulubaale n’addamu n’ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw’anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw’okusaba kwange, n’abantu bange olw’okwegayirira kwange: 47:4 Es 3:9,13kubanga tutundiddwa, nze n’abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n’abazaana, nandisirise, newakubadde ng’omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa. 5Awo kabaka Akaswero n’alyoka ayogera n’agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo? 6Awo Eseza n’ayogera nti Omulabe era atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n’atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale. 7Awo kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruri n’ava ku mbaga ey’omwenge n’ayingira mu lusuku olw’omu lubiri: Kamani n’ayimirira okusaba obulamu bwe eri Eseza kaddulubaale; kubanga yalaba obubi kabaka bw’amuteeserezza. 8Awo kabaka n’akomawo ng’ava mu lusuku olw’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga ey’omwenge; kale Kamani ng’agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n’ayogera nti N’okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani. 97:9 Es 1:10; 2:22; 5:14Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n’ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani ky’akoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n’ayogera nti Mumuwanike okwo. 107:10 Zab 7:16, Nge 11:5,6; 26:27, Dan 6:24, Mat 7:2Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali asimbidde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.