
3
13:1 1 Sam 15:32,33Awo oluvannyuma lw’ebyo kabaka Akaswero n’akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n’amusukkiriza, n’agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye. 23:2,5 Es 5:9Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw’atyo ebigambo bye. Naye Moluddekaayi teyamukutamira so teyamuvuunamira. 3Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti Kiki ekikusobesa ekiragiro kya kabaka? 4Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n’atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba ebigambo bya Moluddekaayi oba nga binaanywera: kubanga yali ababuulidde nga Muyudaaya. 5Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi teyakutama so teyamuvuunamira, kale Kamani n’ajjula obusungu. 6Naye n’alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali: Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi. 73:7 Es 9:24,26Awo mu mwezi ogw’olubereberye, gwe mwezi Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, gwe mwezi Adali. 83:8 Ma 4:8, Bik 16:20,21Awo Kamani n’agamba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasaasaanye abataataaganye mu mawanga mu masaza gonna ag’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka: kyekiva kirema okugasa kabaka okubaganya. 9Kabaka bw’anaasiima, kiwandiikibwe bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza kakumi mu mikono gy’abo abateresebbwa okukuuma omulimu (gwa kabaka), okuzireeta mu mawanika ga kabaka. 103:10 Lub 41:42, Es 7:6; 8:1,2Awo kabaka n’aggya empeta ye ku mukono gwe n’agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya. 11Awo kabaka n’agamba Kamani nti Effeeza eweereddwa gy’oli era n’abantu okubakola nga bw’osiima. 123:12 1 Bassek 21:8, Es 1:22; 8:8-10Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n’abaami abaafuganga buli ssaza n’abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali: mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n’empeta ya kabaka. 133:13 2 Byom 30:6Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n’okutta n’okumalawo Abayudaaya bonna, abato n’abakadde, abaana abato n’abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebbiri, gwe mwezi Adali, n’okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo. 143:14 Es 8:13,14Ebyaggibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo. 15Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw’ekiragiro kya kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani: awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi.