
10
1Awo kabaka Akaswero n’asalira ensi omusolo, n’ebizinga eby’omu nnyanja. 210:2 Es 8:15; 9:4Era ebikolwa byonna eby’obuyinza bwe n’amaanyi ge n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumiumbe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi? 310:3 Lub 41:40Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya yaddirira kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era yakkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng’ayagala okukola abantu be obulungi, era ng’abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda