
8
1Ani ali ng’omugezigezi? era ani amanyi ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g’omuntu ganyiriza amaaso ge, n’obukakanyavu bw’amaaso ge ne buwaanyisibwa. 2Nkuweerera ebigambo, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw’otyo olw ekirayiro kya Katonda. 38:3 Mub 10:4Toyanguyirizanga kuva w’ali; tolemeranga mu kigambo ekibi: kubanga akola buli ky’ayagala. 4Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti Okola ki? 5Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky’alimanya; n’omutima gw’omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n’okuteesa: 68:6 Mub 3:1,17kubanga buli kigambo ky’oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n’okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera nnyo: 78:7 Mub 10:14kubanga tamanyi ekiribaawo: kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba? 88:8 Yob 14:5, Zab 49:6,7Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw’okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa: so n’obubi tebulimuwonya oyo abugoberera. 98:9 Mub 1:13Ebyo byonna nabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w’enjuba: wabaawo ekiseera omuntu omu bw’abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.
10Era nate nalaba ababi nga babaziika, ne bajja eri entaana; n’abo abaakolanga eby’ensonga ne bagenda nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n’ekyo butaliimu. 118:11 Es 7:5, Zab 50:21, Bar 2:4,5, 2 Peet 3:9Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi. 128:12 Ma 12:25, Mub 7:15, Is 3:10; 65:20Alina ebibi newakubadde ng’akola obubi emirundi kikumi n’awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng’abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge: 138:13 Yob 14:2, Mub 6:12, Is 3:11naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng’ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso ga Katonda. 148:14 Yob 21:7, Zab 73:3,12, Yer 12:1Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw’ababi; naye waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw’abatuukirivu: ne njogera nga n’ekyo butaliimu. 158:15 Mub 2:24Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w’enjuba wabula okulyanga n’okunywanga n’okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
16Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n’okulaba emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna tulo mu maaso ge emisana n’ekiro:) 178:17 Zab 73:16, Nge 25:2, Mub 3:11awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w’enjuba: kubanga omuntu ne bw’ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw’alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.