
7
17:1 Nge 22:1, Mub 4:2Erinnya eddungi lisinga amafuta ag’omugavu ag’omuwendo omungi; n’olunaku olw’okufiiramu lusinga olunaku olw’okuzaalirwamu. 2Okugenda mu nnyumba ey’okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey’okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y’abantu bonna; n’omulamu alikiteeka ku mutima gwe. 37:3 2 Kol 7:10Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw’amaaso bwe busannyusa omutima. 4Omutima gw’abagezigezi guba mu nnyumba ey’okuwuubaaliramu; naye omutima gw’abasirusiru guba mu nnyumba ey’ebinyumu. 57:5 Zab 141:5Okuwulira okunenya kw’omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw’abasirusiru. 6Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w’entamu, enseko z’omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n’ezo butaliimu. 77:7 Kuv 23:8Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera. 8Enkomerero y’ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw’amalala. 97:9 Nge 14:17,29Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky’abasirusiru. 10Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez’edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi. 11Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba. 127:12 Nge 3:18Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw’eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go. 137:13 Mub 1:15; 3:11, Is 14:27Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola? 14Osanyukiranga ku lunaku olw’okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw’okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g’olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiriba oluvannyuma lwe.
157:15 Mub 6:12; 8:12-14Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez’obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe. 167:16 Bar 12:3Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza? 177:17 Yob 15:32, Nge 10:27Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka? 18Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.
197:19 Nge 21:22, Mub 9:16,18Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga. 207:20 1 Bassek 8:46, Bar 3:23, 1 Yok 1:8Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n’atayonoona. 21Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng’akukolimira: 22kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw’otyo wakolimira abalala.
23Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala. 247:24 Yob 28:12, Bar 11:33, 1 Tim 6:16Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera? 25Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga, n’okukenneenyanga, n’okunoonyanga amagezi n’ensonga z’ebigambo, n’okumanyanga ng’obubi busirusiru, era ng’obusirusiru ddalu: 267:26 Nge 5:4; 22:14; 23:28era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n’ebitimba, n’emikono gye giri ng’enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye. 27Laba, kino kye nnalaba, bw’ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga: 287:28 1 Bassek 11:3emmeeme yange ky’ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga. 297:29 Lub 1:27; 3:6,7Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.