
6
16:1 Mub 5:13Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w’enjuba, era kizitoowerera abantu: 26:2 1 Bassek 3:13, Luk 12:19,20omuntu Katonda gw’awa obugagga n’ebintu n’ekitiibwa, n’okubulwa n’atabulwa kintu olw’emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n’atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi. 36:3 2 Bassek 9:35, Mub 4:3, Is 14:19,20, Yer 22:19Omuntu bw’azaala abaana kikumi, n’awangaala emyaka mingi, ennaku ez’emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n’etekkuta birungi, era nate n’ataba na kuziikibwa; njogera ng’omwana omusowole amusinga oyo: 4kubanga ajjira mu butaliimu n’agendera mu kizikiza, n’erinnya lye libikkibwako ekizikiza; 5nate talabanga njuba so tagimanyanga; ono ye aba n’okuwummula okusinga oyo: 6weewaawo, newakubadde ng’awangaala emyaka lukumi emirundi ebiri, naye n’atasanyukira birungi: bonna tebadde mu kifo kimu? 76:7 Nge 16:26Okutegana kwonna okw’omuntu kuba kwa kamwa ke, era naye okwegomba tekukkuta. 86:8 Mub 2:15Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amanyi okutambulira mu maaso g’abalamu? 9Okulaba n’amaaso kwe kusinga okutambulatambula n’omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
106:10 Yob 9:32, Mub 1:10; 3:15, Is 45:9, 1 Kol 10:22Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu: so tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. 11Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa? 126:12 Yob 14:2, Mub 3:22; 8:13Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez’obulamu bwe obutaliimu bw’amalawo ng’ekisiikirize? kubanga ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabanga oluvannyuma lwe wansi w’enjuba?