
5
15:1 Kuv 3:5, 1 Sam 15:22, Nge 15:8Okuumanga ekigere kyo bw’ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey’abasirusiru: kubanga tebamanyi nga bakola bubi. 25:2 Mat 6:7Akamwako tekanguyirizanga, so n’omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibeerenga bitono. 3Kubanga ekirooto kijjira wamu n’olufulube lw’emirimu; n’eddoboozi ly’omusirusiru lijjira wamu n’olufulube lw’ebigambo. 45:4 Kubal 30:2, Ma 23:21, Zab 50:14; 66:13,14Bw’oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama. 55:5 Nge 20:25, Bik 5:4Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’olema okusasula. 65:6 Kubal 15:25,26Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogereranga mu maaso ga malayika nga kwali kusobya: Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n’azikiriza omulimu ogw’emikono gyo? 75:7 Mub 12:13Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw’olufulube lw’ebirooto n’obutaliimu n’ebigambo ebingi: naye ggwe otyanga Katonda.
85:8 Zab 12:5, Mub 3:16Bw’onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw’amaanyi ne banyoola omusango mu ssaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu. 9Nate ekyengera eky’ettaka kiba kya bonna: kabaka yennyini ennimiro emuweereza.
10Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n’oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n’ekyo butaliimu. 11Ebintu bwe byeyongera, n’abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki nannyini byo g’afuna, wabula okubiraba obulabi n’amaaso ge? 12Otulo otw’omukozi w’emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw’omugagga tegumuganya kwebaka.
13Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w’eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw’akuuma ne yeerumya yekka: 14obugagga obwo ne buzikirira olw’ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw’aba ng’azadde omwana, nga temuli kintu mu mukono gwe. 155:15 Yob 1:21, 1 Tim 6:7Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng’ali bwereere, bw’atyo bw’aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw’okutegana kwe, ky’ayinza okutwala mu mukono gwe. 165:16 Nge 11:29, Mub 1:3Era n’ekyo kibi kinene, ng’aligenda ng’ali bw’atyo mu bigambo byonna era nga bwe yajja: era magoba ki g’alina n’okutegana n’ateganira mpewo? 17Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n’obusungu.
185:18 Mub 2:10,24Laba, ekyo kye nnalaba nga kye kiwooma kye kisaana kye kino, omuntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna kw’ategana wansi w’enjuba ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bwe yamuwa: kubanga ogwo gwe mugabo gwe. 195:19 Mub 3:13; 6:2Era buli muntu Katonda gw’awadde obugagga n’ebintu, era ng’amuwadde obuyinza okulyangako n’okuddiranga omugabo gwe n’okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda. 20Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez’obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw’okusanyuka kw’omutima gwe.