
3
13:1 Mub 8:6Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w’eggulu kiriko ekiseera kyakyo: 23:2 Yob 14:5, Beb 9:27ekiseera eky’okuzaalirwamu, n’ekiseera eky’okufiiramu; ekiseera eky’okusimbiramu, n’ekiseera eky’okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa; 3ekiseera eky’okuttiramu, n’ekiseera eky’okuwonyezaamu; ekiseera eky’okwabizaamu, n’ekiseera eky’okuzimbiramu; 43:4 Kuv 15:20, 2 Sam 6:14, Bar 12:15ekiseera eky’okukaabiramu amaziga, n’ekiseera eky’okusekeramu; ekiseera eky’okuwuubaaliramu, n’ekiseera eky’okuziniramu; 53:5 2 Bassek 3:25, Is 5:2, Yo 2:16ekiseera eky’okusuuliramu amayinja, n’ekiseera eky’okukuŋŋaanyizaamu amayinja; ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba, n’ekiseera eky’obutagwiramu mu kifuba; 6ekiseera eky’okunoonyezaamu, n’ekiseera eky’okubulirwamu; ekiseera eky’okukuumiramu, n’ekiseera eky’okusuuliramu; 73:7 Am 5:13ekiseera eky’okuyulizaamu, n’ekiseera eky’okutungiramu; ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu; 83:8 Luk 14:26ekiseera eky’okwagaliramu, n’ekiseera eky’okukyayiramu; ekiseera eky’okulwaniramu, n’ekiseera eky’okutabaganiramu. 93:9 Mub 1:3Magoba ki g’afuna oyo akola emirimu mu ekyo mw’ateganira? 103:10 Mub 1:13Nalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b’abantu okubateganya. 113:11 Lub 1:31, Mub 8:17, Bar 11:33Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw’atyo omuntu n’okuyinza n’atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero. 12Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu 133:13 Mub 2:24Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda. 143:14 Yak 1:17Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge. 153:15 Mub 1:9Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n’ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo.
163:16 Mub 4:1; 5:8Era nate nalaba wansi w’enjuba mu kifo eky’okusaliramu emisango ng’obubi bwali eyo; ne mu kifo eky’obutuukirivu ng’obubi bwali omwo. 173:17 Mub 3:1, Mat 16:27, Bar 2:6, 2 Kol 5:10Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy’omutuukirivu n’omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky’ekigambo kyonna n’omulimu gwonna. 18Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw’abaana b’abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng’ensolo obusolo. 193:19 Zab 49:12Kubanga ekyo ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng’eyo bw’efa, n’oyo bw’afa bw’atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu. 203:20 Lub 3:19Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate. 213:21 Mub 12:7Ani amanyi omwoyo gw’abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n’omwoyo gw’ensolo oba gukka wansi mu ttaka? 223:22 Mub 2:10; 10:14Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe?