
12
112:1,2 2 Sam 19:35Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n’emyaka nga teginnasembera bw’olyogera nti Sigisanyukira n’akamu; 2enjuba n’omusana n’omwezi n’emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng’emaze okutonnya. 312:3 Lub 27:1Ku lunaku abakuumi b’ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab’amaanyi ne bakutama, n’abo abasa ne balekayo kubanga batono, n’abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa, 412:4 Zab 141:3, Mub 2:8, Yer 25:10, Mi 7:5enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery’okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw’okukaaba kw’ennyony, n’abawala bonna ab’okuyimba bwe balikkakkanyizibwa; 512:5 Yob 17:13, Nge 26:13, Yer 9:17Weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n’omulozi gulimulisa, n’ejjanzi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey’olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo: 612:6 Zek 4:2,3omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n’ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n’ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba; 712:7 Lub 2:7; 3:19, Yob 34:15, Mub 3:20,21, Zek 12:1enfuufu n’edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba. 812:8 Mub 1:2Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw’ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.
912:9 1 Bassek 4:32, Nge 1:1Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n’anoonya n’aliraanya engero nnyingi. 10Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n’ebyo ebyawandiikibwa n’obugolokofu, bye bigambo eby’amazima.
1112:11 Is 22:23Ebigambo eby’abagezigezi biri ng’emiwunda, era ebigambo eby’ebifunvu by’amakuŋŋaaniro biri ng’enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu. 12Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n’okuyiga ennyo kukooya omubiri. 1312:13 Ma 10:12,13Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu. 1412:14 Mub 3:17; 11:9, Mat 12:36Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.