
11
111:1 Ma 15:10, Nge 19:17, Mat 10:42, 2 Kol 9:6Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo. 211:2 Zab 112:9, Luk 6:30, Bef 5:16Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi. 3Ebire bwe bijjula enkuba, ne biyiika ku nsi: n’omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti mwe gugwa we gulibeera. 4Alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula. 511:5 Zab 139:15, Yok 3:8Nga bw’otomanyi ekkubo ery’empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw’oyo ali olubuto; era bw’otyo bw’otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna. 6Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi. 7Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba. 811:8 Mub 2:23Weewaawo, omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez’ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.
911:9 Kubal 15:39, Mub 2:10; 9:7; 12:14Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw’ebyo byonna. 1011:10 2 Kol 7:1Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo: kubanga obuto n’obuvubuka butaliimu.