
10
1Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag’omugavu ag’omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n’ekitiibwa. 2Omutima gw’omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw’omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono. 310:3 Nge 13:16Era, weewaawo, omusirusiru bw’aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n’agamba buli muntu nga musirusiru. 410:4 1 Sam 25:24, Nge 25:15, Mub 8:3Omwoyo gw’omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi. 5Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w’enjuba, ekiri ng’okusobya okuva eri omukulu: 6obusirusiru nga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi. 7Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n’abalangira nga batambula ng’abaddu ku ttaka. 810:8 Zab 7:15Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma. 9Buli asimula amayinja galimuluma; n’oyo ayasa enku zimuleetera akabi. 10Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n’olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya. 1110:11 Yer 8:17Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky’agasa. 12Ebigambo eby’akamwa k’omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy’omusirusiru girimira ye yennyini. 13Okusooka kw’ebigambo eby’omu kamwa ke busirusiru: n’enkomerero y’okwogera kwe ddalu erireeta akabi. 1410:14 Mub 6:12Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n’ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira? 15Okutegana kw’abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w’aba ayita okugenda mu kibuga. 1610:16 Is 3:4; 5:11Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw’aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya! 1710:17 Nge 31:4Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw’aba nga ye mwana w’abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira! 18Olw’obugayaavu akasolya kabotoka; era olw’okugayaala kw’emikono ennyumba etonnya. 1910:19 Zab 104:15Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n’omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna. 2010:20 Kuv 22:28Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw’osula: kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eritwala eddoboozi, n’ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.