
1
1Ebigambo eby’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
21:2 Yob 7:16, Zab 39:5; 144:4, Bar 8:20Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw’ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. 31:3 Mub 3:9Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw’akola wansi w’enjuba? 41:4 Zab 119:90Emirembe emirala gigenda, n’emirembe emirala gijja; ensi n’ebeerera awo ennaku zonna. 51:5 Zab 19:4-6Era n’enjuba evaayo, enjuba n’egwa, n’eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy’eva. 61:6 Mub 11:5, Yok 3:8Empewo egenda eri obukiika obwa ddyo, n’ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n’edda nate mu kwetooloola kwayo. 7Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate. 81:8 Nge 27:20Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n’okutu tekukkuta okuwulira. 91:9 Mub 3:15Ekyaliwo kye kinaabangawo; n’ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w’enjuba. 10Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka. 111:11 Mub 2:16; 9:5Tewali kujjukira mirembe egy’edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi. 131:13 Lub 3:19, Mub 3:10Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n’okukenneenya olw’amagezi byonna ebikolebwa wansi w’eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b’abantu okubaluma. 141:14 Mub 2:11; 4:4Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w’enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 151:15 Mub 7:13Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n’ekyo ekitatuuka tekibalika. 161:16 1 Bassek 3:12, Mub 2:9Nateesa n’omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n’okumanya. 171:17 Mub 2:12; 7:25Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n’okumanya eddalu n’obusirusiru: nalaba nga n’ekyo kwe kugoberera empewo. 18Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n’oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.