
8
1Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe. 28:2 Kuv 15:25; 16:4, Ma 2:7, 2 Byom 32:31, Am 2:10Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng’ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo. 38:3 Kuv 16:2,3,12-15, Zab 78:23-25, Mat 4:4, 1 Kol 10:3N’akutoowaza n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng’omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu. 48:4 Ma 29:5, Nek 9:21Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n’ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana. 58:5 2 Sam 7:14, Nge 3:11,12, Kub 3:19Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng’omuntu nga bw’akangavvula omwana we, bw’atyo Mukama Katonda wo bw’akukangavvula ggwe. 6Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga. 7Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey’emigga gy’amazzi, ey’enzizi n’ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi; 8ensi ey’eŋŋaano ne sayiri, n’emizabbibu n’emitiini n’emikomamawanga; 9ensi mw’onooliiranga emmere n’etebula, toobengako ky’obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo. 10Era onoolyanga n’okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw’ensi ennungi gye yakuwa. 11Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n’emisango gye n’amateeka ge bye nkulagira leero: 128:12 Nge 30:9, Kos 13:6bw’onoomalanga okulya n’okkuta, era ng’omaze okuzimba ennyumba ennungi n’okutuula omwo; 13era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n’effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by’olina nga byaze; 148:14 Zab 106:21kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, mu nnyumba y’obuddu; 158:15 Kuv 17:6, Kubal 21:6, Kos 13:5eyakuyisa mu ddungu eddene era ery’entiisa, omwali emisota egy’omuliro n’enjaba ez’obusagwa, n’ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw’embaalebaale; 16eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo: 178:17 Ma 9:4era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g’omukono gwange bye binfunidde obugagga buno. 188:18 Ma 7:12, Nge 10:22, Kos 2:8Naye onojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero. 19Awo olunaatuukanga, bw’oneerabiranga Mukama Katonda wo n’ogoberera bakatonda abalala n’obaweereza n’obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira. 208:20 Dan 9:11-12Ng’amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.