Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


7

17:1 Kuv 23:23, Ma 4:38Mukama Katonda wo bw’alikuyingiza mu nsi gy’ogenda okulya, n’asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n’Omugirugaasi, n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omuperizi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n’amaanyi; 27:2 Kuv 23:32, Kubal 21:2,3, Balam 2:2era Mukama Katonda wo bw’alibagabula mu maaso go, naawe n’obatta; n’olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tabalaganga kisa: 37:3,4 Kuv 34:16, Yos 23:12,13, 1 Bassek 11:2, Ezer 9:2so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo. 4Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu. 57:5 Kuv 34:13, Ma 7:25Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n’empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n’ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro. 67:6 Kuv 19:5,6, Zab 135:4, Am 3:2, 1 Peet 2:9Kubanga gw’oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery’envuma gy’ali okusinga amawanga gonna agali ku maaso g’ensi. 7Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: 87:8 Kuv 32:13, Ma 10:15, Zab 105:8,9, Kos 11:1naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n’engalo ez’amaanyi, n’abanunula mu nnyumba y’obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri. 97:9 Kuv 20:6, Nek 1:5, Is 49:7, Dan 9:4, 1 Kol 1:9; 10:13, 2 Kol 1:18, 1 Bas 5:24, 2 Bas 3:3, 2 Tim 2:13, Beb 10:23; 11:11, 1 Yok 1:9Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n’okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi; 107:10 Is 59:18, Nak 1:2, 2 Peet 3:9asasula abo abamukyawa ng’alabagana n’amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng’alabagana n’amaaso. 11Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n’amateeka, n’emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga.

12Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino, ne mugikwata, ne mugikola, Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n’okusaasira bye yalayirira bajjajja bo: 137:13 Ma 28:4; 30:9, Yok 14:21era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by’omubiri gwo n’ebibala by’ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n’amafuta go, ezzadde ly’ente zo n’abaana b’embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. 14Onoobanga n’omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo. 157:15 Kuv 9:14; 15:26, Ma 28:60Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez’e Misiri, z’omanyi, naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa. 167:16 Zab 106:36Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g’anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambika gy’oli. 17Bw’onooyogeranga mu mutima gwo nti amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga? 187:18 Zab 77:11; 105:5; 135:8-9Tobatyanga: onojjukiriranga ddala Mukama Katonda wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna; 19okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n’obubonero, n’eby’amagero, n’engalo ez’amaanyi, n’omukono ogwagololwa, Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw’atyo Mukama Katonda wo bw’anaakolanga amawanga gonna g’otya. 207:20 Kuv 23:28, Yos 24:12Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba, okutuusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge. 217:21 Kubal 14:14; 16:3, Ma 10:17, Yos 3:10, Nek 1:5; 4:14; 9:32Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow’entiisa. 227:22 Kuv 23:29,30Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez’omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga. 23Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go, era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira. 247:24 Ma 9:14; 11:25, Yos 1:5; 10:8; 12:1; 23:9Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w’eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw’olibazikiriza. 257:25 Kuv 20:17, Ma 12:3, Yos 7:1,21, 1 Byom 14:12Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo: 267:26 Leev 27:28, Ma 13:17, Yos 6:17,18so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n’ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda