
6
1Kale kino kye kiragiro, amateeka n’emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye musomokera okugenda okugirya: 26:2 Zab 128:1, Mub 12:13otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n’ebiragiro bye, bye nkulagira ggwe n’omwana wo n’omuzzukulu wo, ennaku zonna ez’obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi. 36:3 Lub 15:5; 22:17Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki.
46:4 Zek 14:9, Mak 12:29, 1 Kol 8:4,6Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu: 56:5 Mat 22:37, Luk 10:27era onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, nemmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna. 66:6 Ma 11:18, Zab 37:31, Is 51:7Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: 7era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga. 86:8 Kuv 13:9, Ma 11:18Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby’oku kyenyi wakati w’amaaso go. 96:9 Ma 11:20Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy’ennyumba yo, ne ku nzigi zo.
106:10,11 Yos 24:13, Zab 105:44Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw’alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by’otaazimba, 11n’ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z’otajjuza, n’ebidiba ebyasimibwa, by’otaasima, ensuku ez’emizabibu n’emizeyituuni, gy’otaasimba, n’olya n’okkuta; 126:12 Nge 30:8,9n’olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, mu nnyumba y’obuddu. 136:13 Ma 10:20, Zab 63:11, Mat 4:10Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly’onoolayiranga. 146:14 Ma 11:16; 13:17, Yer 25:6Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab’amawanga agabeetoolodde; 156:15 Kuv 20:5, Ma 11:17kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow’obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n’akuzikiriza okukuggya ku maaso g’ensi.
166:16 Kuv 17:2-7, Mat 4:7Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa. 176:17 Zab 119:4Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n’ebyo bye yategeeza, n’amateeka ge, ge yakulagira. 18Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, 19okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera.
206:20,21 Kuv 13:14Omwana wo bw’akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng’ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n’amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira, amakulu gaabyo ki? 21N’olyoka ogamba omwana wo nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n’engalo ez’amaanyi: 226:22 Zab 135:9era Mukama n’alaga obubonero n’eby’amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe: 23n’atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe. 246:24 Ma 8:1; 10:13, Zab 41:2Era Mukama n’atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw’obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero. 256:25 Ma 24:13Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.