
5
1Awo Musa n’ayita Isiraeri yenna n’abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n’emisango bye njogera mu matu gammwe leero, mubiyige, mubikwatenga okubikola. 25:2 Kuv 19:5; 24:7,8Mukama Katonda waffe yalagaanira endagaano naffe ku Kolebu. 3Mukama teyalagaana ndagaano eyo ne bajjajja baffe, naye naffe ffe, abali wano fenna nga balamu leero. 45:4 Kubal 14:14, Ma 4:12Mukama yayogera nammwe nga mulabagana n’amaaso ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro, 5(nayimirira wakati wa Mukama nammwe mu biro ebyo, okubalaga ekigambo kya Mukama: kubanga mwali mutidde olw’omuliro, ne mutalinnya ku lusozi;) ng’ayogera nti
65:6-21Kuv 20:2-17Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y’e Misiri, mu nnyumba y’obuddu.
7Tobanga na bakatonda balala we ndi.
8Teweekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky’ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w’ettaka: 9tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa; 10era addiramu abantu nkumi na nkumi ku abo abanjagala, abeekuuma amateeka gange.
11Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talimulowooza nga taliiko musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.
12Okwatanga olunaku olwa ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 13Ennaku omukaaga okolanga n’omala emirimu gyo gyonna: 145:14 Kuv 23:12naye olunaku olw’omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n’omuzaana wo bawummulenga era nga naawe. 155:15 Kuv 20:11Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyamu n’engalo ez’amaanyi n’omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti.
16Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
17Tottanga. 18So toyendanga. 19So tobbanga. 20So towaayirizanga muntu munno.
21So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno.
225:22 Kuv 24:12, Ma 4:11Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n’eddoboozi ddene: n’atayongerako birala. N’abiwandiika ku bipande bibiri eby’amayinja n’agampa. 23Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera, abakulu bonna ab’ebika byammwe, n’abakadde bammwe; 245:24,26 Ma 4:33ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n’omuntu n’aba mulamu. 25Kale kaakano twandifiiridde ki? kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza: bwe tunaawulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tunaafa. 26Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n’aba mulamu? 275:27 Kuv 20:19Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera: olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by’anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola. 28Mukama n’awulira eddoboozi ly’ebigambo byammwe bwe mwayogera nange; Mukama n’aŋŋamba nti Mpulidde eddoboozi ly’ebigambo by’abantu bano, bye bakubuulidde: boogedde bulungi byonna bye bagambye. 295:29 Ma 4:40; 32:29, Zab 81:13, Is 48:18Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n’okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n’abaana baabwe emirembe gyonna! 30Genda obagambe nti Muddeeyo mu weema zammwe. 31Naye ggwe, yimirira wano we ndi, nange n’akubuulira ekiragiro kyonna n’amateeka n’emisango by’olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okugirya. 325:32 Ma 17:20, Yos 1:7Kale munaakwatanga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira: temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. 335:33 Ma 4:40; 10:12, Yer 7:23Munaatambuliranga mu kkubo lyonna Mukama Katonda wammwe lye yabalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era mumale ennaku nnyingi mu nsi gye mulirya.