Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


4

14:1 Ma 8:1, Ez 20:11Ne kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n’emisango, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mulye ensi Mukama Katonda wa bajjajja bammwe gy’abawa. 24:2 Ma 12:32, Kub 22:18,19Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira. 34:3 Kubal 25:3-9Amaaso gammwe galabye Mukama kye yakola olwa Baalipyoli: kubanga abantu bonna abaagoberera Baalipyoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza wakati mu mmwe. 4Naye mmwe abeegatta ne Mukama Katonda wammwe mukyali balamu buli muntu ku mmwe leero. 5Laba, mbayigirizza amateeka n’emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingiramu okugirya. 64:6 Yob 28:28, Zab 111:10, Nge 9:10Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n’okutegeera kwammwe mu maaso g’amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab’amagezi era abategeera. 74:7 2 Sam 7:23, 1 Bassek 6:13, Zab 145:18, Is 55:6Kubanga ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw’ali bwe tumukoowoolanga? 84:8 Bar 7:12, 1 Bassek 8:51Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n’emisango egy’ensonga ng’amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero? 94:9 Lub 18:19, Ma 6:7; 11:19, Zab 78:4-6, Nge 4:23Kyokka weegendereze weekuume emmeeme yo ng’onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n’abaana b’abaana bo; 104:10 Kuv 19:9,16, Ma 17:19; 31:12olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe. 114:11 Kuv 19:17,18, Beb 12:18Ne musembera ne muyimirira wansi w’olusozi; olusozi ne lwaka n’omuliro okutuusa ku mutima gw’eggulu, n’ekizikiza, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte. 124:12 Kuv 20:1,19,22, Ma 4:33,36; 5:4,22Mukama n’ayogera nammwe ng’ayima wakati mu muliro: mwawulira eddoboozi ly’ebigambo, naye ne mutalaba kifaananyi kyonna; ddoboozi lyokka. 134:13 Kuv 24:12; 34:28, Ma 9:9N’ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n’agawandiika ku bipande by’amayinja bibiri. 144:14 Kuv 21:1 Mukama n’andagira mu biro ebyo okubayigiriza amateeka n’emisango, mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya. 154:15 Ma 4:12Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng’ayima wakati mu muliro: 164:16-18 Kuv 20:4, Ma 5:8, Bar 1:23mulemenga okweyonoona ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kifaanana ekintu kyonna, ekifaananyi ky’ekisajja oba eky’ekikazi, 17ekifaananyi ky’ensolo yonna eri ku nsi, ekifaananyi ky’ennyonyi yonna erina ebiwaawaatiro ebuuka mu bbanga, 18ekifaananyi kye kintu kyonna ekyewalula ku ttaka, ekifaananyi ky’ekyennyanja kyonna ekiri mu mazzi wansi w’ettaka: 194:19 Ma 17:3, 1 Bassek 6:13, Zab 145:18, Is 55:6era olemenga okuyimusa amaaso go mu ggulu, n’olaba enjuba n’omwezi n’emmunnyeenye, lye ggye lyonna ery’omu ggulu, n’osendebwasendebwa n’obisinza, n’obiweereza, Mukama Katonda wo bye yagabira amawanga gonna agali wansi w’eggulu lyonna. 204:20 1 Bassek 8:51Naye Mukama yabatwala n’abaggya mu kikoomi eky’ekyuma, mu Misiri, okuba gy’ali abantu ab’envuma, nga leero. 214:21 Kubal 20:12Era nate Mukama yansunguwalira nze ku lwammwe, n’alayira nze obutasomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okuba obutaka: 224:22 Ma 3:25,27naye kiŋŋwanira okufiira mu nsi muno, tekiŋŋwanira kusomoka Yoludaani: naye mmwe mulisomoka ne mulya ensi eyo ennungi. 234:23 Ma 4:16Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y’ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana. 244:24 Kuv 20:5; 24:17Kubanga Mukama Katonda wo gwe muliro ogwokya, Katonda ow’obuggya.

254:25 2 Bassek 17:17Bw’onoozaalanga abaana n’abaana b’abaana, era nga mumaze ebiro bingi mu nsi, era nga mumaze okweyonoona, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y’ekintu kyonna, ne mukola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, okumusunguwaza: 264:26 Ma 11:17; 30:18, Is 1:2mpita eggulu n’ensi okuba abajulirwa eri mmwe leero, nga mulizikiririra ddala mangu ku nsi gye musomokera Yoludaani okugendamu okugirya; temuligimalako nnaku nnyingi, naye mulizikiririra ddala. 274:27,28 Leev 26:33, Ma 28:62,64, Nek 1:8, Zab 115:4-7, Is 44:9; 46:7, Ez 12:15Era Mukama alibasaasaanya mu mawanga, era mulisigalawo batono mu bantu, Mukama gy’alibatwala ewala. 28Era muliweerereza eyo bakatonda, emirimu gy’emikono gy’abantu, emiti n’amayinja, ebitalaba newakubadde okuwulira newakubadde okulya newakubadde okuwunyiriza. 294:29 2 Byom 15:4, Is 55:6,7, Yer 29:13Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw’onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna. 30Bw’onooba ng’olabye ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, mu nnaku ez’enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye; 314:31 Kuv 34:6, Ma 31:6,8, 2 Byom 30:9, Nek 9:31, Yon 4:2kubanga Mukama Katonda wo Katonda wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira. 32Kubanga kale buuza ennaku ez’edda ezaakusooka, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda abantu ku nsi, era okuva ku nkomerero y’eggulu okutuuka ku nkomerero yaalyo, oba nga waabangawo ekifaanana ng’ekigambo kino ekikulu, oba kyawulirwanga ekiri bwe kityo. 334:33 Ma 4:12Waabangawo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera nga liva wakati mu muliro, nga ggwe bwe wawulira, ne baba balamu? 34Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng’aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n’okukema n’obubonero n’eby’amagero n’entalo n’engalo ez’amaanyi n’omukono ogwagololwa n’eby’entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe? 354:35 Ma 4:39, 1 Sam 2:2, 2 Sam 22:32, Is 45:5,18,21, Mak 12:32Ggwe walagibwa bw’otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye. 364:36 Kuv 19:9,19; 20:22, Ma 4:12Yakuwuliza eddoboozi lye ng’ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n’owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro. 374:37 Kuv 33:14, Ma 10:15, Is 63:9Era kubanga yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n’akuggya mu Misiri ye ng’abeera naawe olw’obuyinza bwe obungi; 384:38 Kuv 23:27,28okugoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n’amaanyi, okukuyingiza ggwe, okukuwa ensi yaabwe okuba obutaka, nga leero. 394:39 Ma 4:35, Yos 2:11, 2 Byom 20:6Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: tewali mulala. 404:40 Leev 22:31Era oneekuumanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n’abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa, emirembe gyonna.

414:41 Kubal 35:6,14Awo Musa n’alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba; 42omussi addukirenga omwo, anattanga munne ng’ataniddwa, so nga tamukyawanga; addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo abeerenga omulamu; 434:43 Yos 20:8Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky’Ababalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky’Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky’Abamanase.

44Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isiraeri: 45buno bwe bujulirwa n’amateeka n’emisango Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri; 464:46 Kubal 21:24, Ma 3:29emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri: 474:47 Kubal 21:33,35ne balya ensi ye, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani, bakabaka bombi ab’Abamoli, abaabanga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba; 484:48 Ma 2:36; 3:8,9okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu kya Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni (oyo ye Kerumooni,) 49ne Alaba yonna emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, okutuusa ku nnyanja ya Alaba, awali entunnumba za Pisuga.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda