
34
134:1-3 Ma 32:49Awo Musa n’ava mu nsenyi za Mowaabu n’alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n’amulaga ensi yonna ey’e Giriyaadi okutuusa ku Ddaani; 2ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey’emabega; 334:3 Balam 1:16; 3:13, 2 Byom 28:15n’Obukiika obwa ddyo, n’Olusenyi olw’ekiwonvu eky’e Yeriko ekibuga eky’enkindu okutuusa ku Zowaali. 434:4 Lub 15:18; 50:24, Ma 3:27Mukama n’amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo: nkugirengezezza n’amaaso go, naye tolisomoka kugendayo. 5Awo Musa omuddu wa Mukama n’afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali. 634:6 Yud 9N’amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero. 734:7 Lub 27:1; 48:10Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n’amaanyi ge ag’obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko. 834:8 Lub 50:3, Kubal 20:29Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu: kale ennaku ez’okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa. 934:9 Kuv 28:3, Kubal 27:18,23, Yos 1:17, Is 11:2Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 1034:10 Kuv 33:11, Kubal 12:6-8, Ma 18:15,18Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng’alabagana n’amaaso: 1134:11,12 Ma 4:34mu bubonero obwo bwonna n’eby’emagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri, eri Falaawo, n’eri abaddu be bonna, n’eri ensi ye yonna; 12ne mu mukono ogwo gwonna ogw’amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.