
33
133:1 Yos 14:6Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa. 233:2 Balam 5:4, Dan 7:10, Kaab 3:3, Yud 14, Kub 5:11N’ayogera nti
Mukama yava ku Sinaayi,
Era yabagolokokera ng’ava ku Seyiri;
Yamasamasa okuva ku lusozi Palani,
N’ava eri obukumi bw’abatukuvu:
Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag’omuliro gye bali.
333:3 Kos 11:1, Luk 10:39, Yok 10:27-29, Bik 22:3Weewaawo, ayagala amawanga;
Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo.
Ne batuula ku bigere byo;
Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo.
433:4 Yok 1:17; 7:19Musa yatulagira amateeka,
Obusika obw’ekibiina kya Yakobo.
5Era yali kabaka mu Yesuluni.
Emitwe gy’abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa,
Ebika byonna ebya Isiraeri wamu.
633:6 Lub 49:3,4Lewubeeni abenga omulamu, alemenga okufa;
Naye abasajja be babenga batono.
733:7 Lub 49:8-12Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n’ayogera nti
Wulira, Mukama, eddoboozi lya Yuda,
Omuyingize eri abantu be:
N’emikono gye yeerwanirira;
Era onoobanga mubeezi eri abalabe be.
8Ne ku Leevi n’ayogera nti
Sumimu wo ne Ulimu wo biri n’omusajja wo atya Katonda,
Gwe wakemera e Masa,
Gwe wawakana naye ku mazzi ag’e Meriba;33:8 Lub 49:5-7, Kuv 17:7; 28:30, Kubal 20:13
933:9 Kuv 32:26-29, Mal 2:4-6, Mat 10:37, Mak 10:29, Luk 14:26Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye;
So teyakkiriza baganda be,
So teyamanya baana be ye:
Kubanga bakutte ekigambo kyo,
Era beekuuma endagaano yo.
1033:10 Kuv 30:7,8, Leev 10:11, Ma 17:9-11, Zab 51:19Banaayigirizanga Yakobo emisango gyo,
Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go:
Banaateekanga eby’okwoteza mu maaso go,
N’ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba ku kyoto kyo.
1133:11 Zab 20:3Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa,
Okkirize omulimu gw’emikono gye:
Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako,
N’abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate.
1233:12 Lub 49:27Ku Benyamini n’ayogera nti
Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye;
Amubikkako okuzibya obudde,
Era atuula wakati w’ebibegabega bye.
1333:13 Lub 27:28; 49:22-26Ne ku Yusufu n’ayogera nti
Ensi ye eweebwe Mukama omukisa;
Olw’eby’omuwendo omungi eby’omu ggulu, olw’omusulo,
N’olw’ennyanja egalamira wansi,
14N’olw’eby’omuwendo omungi eby’ebibala by’enjuba,
N’olw’eby’omuwendo omungi ebiva mu kukula kw’emyezi,
15N’olw’ebikulu eby’ensozi ez’edda,
N’olw’eby’omuwendo omungi eby’ensozi ezitaggwaawo.
1633:16 Kuv 3:2-4N’olw’eby’omuwendo omungi eby’ensi n’okujjula kwayo,
N’ekisa ky’oyo eyatuula mu kisaka:
Omukisa gujje ku mutwe gwa Yusufu,
Ne ku bwezinge bw’omutwe gw’oyo eyayawulibwa ne baganda be.
1733:17 Lub 48:19, 1 Bassek 22:11, Zab 44:5Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe;
N’amayembe ge mayembe ga mbogo:
Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z’ensi:
Era bwe bukumi bwa Efulayimu,
Era ze nkumi za Manase.
1833:18 Lub 49:13-15Ne ku Zebbulooni n’ayogera nti
Sanyuka, Zebbulooni, mu kufuluma kwo,
Naawe, Isakaali, mu weema zo.
1933:19 Zab 4:5, Is 2:3Baliyita amawanga eri olusozi;
Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu:
Kubanga balinuuna okujjula kw’ennyanja,
N’obugagga obukweke obw’omu musenyu.
2033:20 Lub 49:19Ne ku Gaadi n’ayogera nti
Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi;
Atuula ng’empologoma enkazi,
N’ataagula omukono, era obwezinge bw’omutwe.
2133:21 Kubal 32:1-5,16-19, Yos 1:12-15; 4:12,13Ne yeeterekera omugabo ogw’olubereberye,
Kubanga eyo ekitundu eky’omugabi w’amateeka kyaterekwa;
N’ajja awamu n’emitwe gy’abantu,
Yakola eby’obutuukirivu ebya Mukama,
N’emisango gye eri Isiraeri.
2233:22 Lub 49:16,17, Yos 19:47, Balam 18:27Ne ku Ddaani n’ayogera nti
Ddaani mwana wa mpologoma,
Abuuka okuva mu Basani.
2333:23 Lub 49:21, Yos 19:32-39Ne ku Nafutaali n’ayogera nti
Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi,
Anyiye omukisa gwa Mukama:
Ggwe lya obugwanjuba n’obukiika obwa ddyo.
2433:24 Lub 49:20Ne ku Aseri n’ayogera nti
Aseri aweebwe omukisa gw’abaana;
Asiimibwenga baganda be,
Era annyikenga ekigere kye mu mafuta.
25Ebisiba byo binaabanga kyuma na kikomo;
Era ng’ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga bwe gatyo.
2633:26 Kuv 15:11, Zab 68:33,34; 86:8; 104:3, Is 19:1, Kaab 3:8Tewali afaanana Katonda, ggwe Yesuluni,
Eyeebagala ku ggulu olw’okukubeera,
Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga.
2733:27 Zab 90:1Katonda ataggwaawo kye kifo ky’otuulamu,
Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira:
Naasimbulamu abalabe mu maaso go,
Naayogera nti Zikiriza.
2833:28 Kubal 23:9, Zab 68:26, Is 48:1, Yer 23:6Era Isiraeri atuula mirembe,
Oluzzi lwa Yakobo luli lwokka,
Mu nsi ey’eŋŋaano n’omwenge;
Weewaawo, eggulu lye litonnya omusulo.
2933:29 Ma 32:13, 2 Sam 7:23, Zab 18:44; 33:20; 115:9; 144:15, Is 45:17Olina omukisa, ggwe Isiraeri:
Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama,
Engabo ey’okubeerwa kwo,
Era kye kitala eky’obukulu bwo obusinga!
Era abalabe bo balikujeemulukukira;
Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu.