
32
132:1 Ma 4:26, Zab 50:4, Is 34:1Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera;
N’ensi ewulire ebigambo by’akamwa kange:
232:2 Yob 29:22,23, Zab 72:6, Is 55:10,11, Mi 5:7Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng’enkuba,
Okwogera kwange kunaagwa ng’omusulo;
Ng’obukubakuba ku ssubi eggonvu,
Era ng’oluwandaggirize ku muddo:
332:3 Ma 3:24Kubanga naatendera erinnya lya Mukama:
Muwe obukulu Katonda waffe.
432:4 Yob 34:10, Zab 18:2,30,31, Is 30:29, Dan 4:37Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira;
Kubanga amakubo ge gonna musango:
Katonda ow’obwesigwa atalina bubi,
Wa mazima oyo era wa nsonga.
532:5 Mat 17:17, Luk 9:41, Baf 2:15Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe:
Gye mirembe emikakanyavu egyakyama.
632:6 Zab 74:2, Is 51:13; 63:16Bwe musasula Mukama bwe mutyo,
Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakugula?
Ye yakukola, ye yakunyweza.
7Jjukira ennaku ez’edda,
Lowooza emyaka gy’emirembe emingi:
Buuza kitaawo, anaakulaga;
Abakadde bo, banaakubuulira.
832:8 Luk 11:8, Bik 17:26Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe,
Bwe yayawula abaana b’abantu,
Yassaawo ensalo z’amawanga
Ng’omuwendo bwe gwali ogw’abaana ba Isiraeri.
9Kubanga omugabo gwa Mukama be bantu be;
Yakobo gwe muteeko gw’obusika bwe.
1032:10 Ma 8:15, Zab 17:8; 32:7,10, Yer 2:6, Zek 2:8Yamusanga mu nsi ey’eddungu,
Era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira;
Yamwetooloolanga, yamujjanjabanga.
Yamukuumanga ng’emmunye y’eriiso lye:
1132:11 Kuv 19:4Ng’empungu esaasaanya ekisu kyayo,
Epaapaalira ku bwana bwayo,
Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n’abatwala,
N’abasitulira ku byoya bye.
1232:12 Is 43:12Mukama yekka ye yamukulembera,
So tewabanga katonda mulala wamu naye.
1332:13 Yob 29:6, Zab 81:16, Is 58:14, Ez 36:2Yamulinnyisa ku bifo ebigulumivu eby’ensi,
N’alya ekyengera eky’ennimiro;
N’amunuunyanga omubisi gw’enjuki okuva mu lwazi,
N’amafuta okuva mu lwazi olw’embaalebaale;
1432:14 Lub 49:11Omuzigo gw’ente n’amata g’endiga,
N’amasavu g’abaana b’endiga,
N’endiga ennume ez’engeri ey’e Basani, n’embuzi emmandwa,
N’eŋŋaano eya ssava ng’amasavu g’ensigo;
N’onywanga omwenge oguva mu musaayi gw’omuzabbibu.
1532:15 Ma 31:16,20, Zab 89:26, Is 1:4; 44:2Naye Yesuluuni n’asavuwala, n’asamba:
Wasavuwala, wanenewala, wafuuka munyirivu:
N’alyoka aleka Katonda eyamukola,
N’anyooma Olwazi olw’obulokozi bwe.
1632:16 Zab 78:58Baamukwasanga obuggya ne bakatonda abalala,
Baamusunguwazanga n’eby’emizizo.
1732:17 Balam 5:8, Zab 106:37, 1 Kol 10:20Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda,
Bakatonda be bataamanyanga,
Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke,
Bajjajja bammwe be bataatyanga.
1832:18 Is 17:10, Yer 2:27Lwazi eyakuzaala tomujjukira,
Era weerabidde Katonda eyakuzaala.
1932:19 Is 1:2Mukama n’akiraba n’abatamwa
Olw’okusunguwaza kwa batabani be ne bawala be.
2032:20 Ma 31:17N’ayogera nti Naabakisa amaaso gange,
Ndiraba enkomerero yaabwe bw’eriba:
Kubanga gye mirembe egy’ekyejo ekingi,
Abaana omutali kukkiriza.
2132:21 Ma 32:16, 1 Bassek 16:13, Yer 8:19, Bar 10:19Bankwasanga obuggya n’ekyo ekitali Katonda;
Bansunguwazanga n’ebigambo byabwe ebitaliimu:
Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga;
Ndibasunguwaza n’eggwanga essirusiru.
2232:22 Yer 15:14, Kung 4:11Kubanga omuliro gukoledde mu busungu bwange,
Era gwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo,
Era gwokya ensi n’ekyengera kyayo,
Era gukoleeza ensozi we zisibuka.
2332:23,24 Ez 5:16,17 Ndibatuumako obubi;
Ndimalira obusaale bwange ku bo:
24Balikoozimba n’enjala, n’okwokya okungi kulibamalawo,
N’okuzikirira okukambwe;
N’amannyo g’ensolo ndibasindikira,
N’obusagwa bw’ebyewalula eby’omu nfuufu.
2532:25 Kung 1:20Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa,
Ne mu bisenge entiisa;
Kinaazikirizanga omulenzi era n’omuwala,
Ayonka era n’omusajja ameze envi.
2632:26 Zab 34:16, Ez 20:23Nayogera nti Nandibasaasaanyizza wala,
Nandimazeeyo okujjukirwa kwabwe mu bantu:
2732:27 Zab 140:8Singa saatya kusunguwaza kwa mulabe,
Abaabakyawa baleme okwerimba,
Baleme okwogera nti Omukono gwaffe gugulumizibwa,
Era Mukama si y’akoze bino byonna.
2832:28 Is 27:11Kubanga lye ggwanga eritamanyi kuteesa bigambo,
So temuli kutegeera mu bo.
2932:29 Zab 81:13, Luk 19:42Singa ba magezi ne bategeera ekyo,
Ne balowooza enkomerero yaabwe ey’oluvannyuma!
3032:30 Leev 26:8, Balam 2:14Omu yandigobye atya olukumi,
N’ababiri bandiddusizza batya akakumi,
Lwazi waabwe singa teyabatunda,
Era Mukama singa teyabagabula?
3132:31 1 Sam 2:2; 4:8Kubanga olwazi lwabwe teruliŋŋanga olwazi lwaffe,
Newakubadde abalabe baffe bennyini nga be basala omusango.
32Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw’e Sodoma,
Ne mu nnimiro ez’e Ggomola:
Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa,
Ebirimba byazo bikaawa:
33Omwenge gwabwe busagwa bwa misota,
Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa.
3432:34 Yob 14:17Kino tekyaterekwa gye ndi,
Nga kiteekeddwako akabonero mu bugagga bwange?
3532:35 Zab 94:1, Bar 12:19, Beb 10:30, 2 Peet 2:3Okuwalana kwange, n’okusasula,
Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera:
Kubanga olunaku lwabwe olw’okulaba ennaku luli kumpi,
N’ebigenda okubajjira biryanguwa.
3632:36 Balam 2:18, 1 Bassek 14:10, Zab 106:45; 135:14, Beb 10:30Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango,
Era alyejjusa olw’abaddu be;
Bw’aliraba ng’obuyinza bwabwe buweddewo,
So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.
37Era alyogera nti Bakatonda baabwe bali ludda wa,
Olwazi lwe beesiganga;
3832:37,38 Balam 10:14, 1 Bassek 18:27, Yer 2:18Abaalyanga amasavu ag’essaddaaka zaabwe,
Abaanywanga omwenge ogw’ekyo kye baawangayo ekyokunywa
Bagolokoke bababeere,
Babe ekigo kyammwe,
3932:39 1 Sam 2:6, 2 Bassek 5:7, Yob 5:18, Is 43:13; 44:8; 45:5; 41:4, Kos 6:1Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo,
So tewali katonda wamu nange:
Nze nzita, era nze mpa obulamu;
Nfumise, era mponya:
So tewali ayinza okulokola okuggya mu mukono gwange.
4032:40 Kubal 14:28Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu,
Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
4132:41 Zab 7:12, Is 1:24Bwe ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa,
Omukono gwange ne gukwata ku musango;
Ndiwalana eggwanga ku balabe bange,
Ndisasula abo abankyawa.
4232:42 Yer 46:10Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
N’ekitala kyange kirirya ennyama;
N’omusaayi gw’abo abattibwa n’abawambe,
Okuva ku mutwe gw’abo abakulembera abalabe,
4332:43 2 Bassek 9:7, Bar 15:10, Kub 19:2Musanyuke, mmwe amawanga,
wamu n’abantu be:
Kubanga aliwalana eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu be,
Era alisasula abalabe be okubonerezebwa,
Era alitangirira ensi ye, abantu be.
44Musa n’ajja n’ayogerera ebigambo byonna eby’oluyimba luno mu matu g’abantu, ye ne Koseya omwana wa Nuni. 45Musa n’amalira ddala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isiraeri yenna: 4632:46 Ma 6:6,7n’abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby’amateeka ago okubikolanga. 4732:47 Leev 18:5, Nge 3:2, Bar 10:5, Lub 49:8-12Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli; kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw’ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.
48Mukama n’agamba Musa ku lunaku olwo 4932:49-51 Kubal 27:12-14nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, ku lusozi Nebo, oluli mu nsi ya Mowaabu, olwolekera Yeriko; olengere ensi ya Kanani gye mpa abaana ba Isiraeri okuba obutaka: 5032:50 Kubal 20:24,25,28ofiire ku lusozi lw’olinnyako, okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo; nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be: 5132:51 Kubal 20:11-13kubanga mwansobyako wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag’e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri. 5232:52 Ma 3:27Kubanga olirengera ensi mu maaso go; naye toligendayo mu nsi gye mpa abaana ba Isiraeri.