
3
13:1-3 Kubal 21:33-35Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka w’e Basani n’asitula okutulumba, ye n’abantu be bonna, okulwanira Ederei. 2Mukama n’aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye n’abantu be bonna n’ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni. 3Awo Mukama Katonda waffe n’agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka w’e Basani n’abantu be bonna: ne tumutta okutuusa lwe watamusigalirawo n’omu. 43:4-5 1 Bassek 4:13Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 5Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n’enzigi n’ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo. 63:6,7 Ma 2:34,35Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n’abakazi n’abaana abato. 7Naye ente zonna n’ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago. 8Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab’Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni; 93:9 1 Byom 5:23, Zab 29:6; 42:6(Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n’Abamoli bamuyita Seniri;) 103:10 Yos 13:11,12,21ebibuga byonna eby’omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by’obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 113:11 Ma 2:11,20, 2 Sam 12:26(Kubanga Ogi kabaka w’e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky’abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n’obugazi bwakyo emikono ena, ng’omukono gw’omuntu bwe guli.) 123:12 Kubal 32:33-38, Yos 13:8-12N’ensi eyo ne tugirya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ky’ensi ey’ensozi eya Gireyaadi, n’ebibuga byayo n’abiwa Abalewubeeni n’Abagaadi: 133:13 Yos 13:29-31n’ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky’ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna. (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa. 143:14 Kubal 32:41, Yos 13:13Yayiri mutabani wa Manase n’atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y’Abagesuli n’Abamaakasi; n’agituuma, ye Basani, ng’erinnya lye bwe lyali, Kavosuyayiri, okutuusa leero.) 153:15 Kubal 32:39,40Gireyaadi n’empaayo Makiri. 163:16 Yos 12:2N’Abalewubeeni n’abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n’ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y’abaana ba Amoni; 173:17 Kubal 34:11, Ma 4:49, Yos 12:3era ne Alaba ne Yoludaani n’ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Ey’omunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
183:18 Kubal 32:20,21Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte ebyokulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira. 193:19,20 Yos 1:14,15Naye bakazi bammwe n’abaana bammwe abato n’ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa; 20okutuusa Mukama lw’aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa. 21Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by’akoze bakabaka bano bombi: bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda. 223:22 Kuv 14:14Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira.
23Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga njogera 243:24 Kuv 15:11, Ma 11:2, 1 Byom 29:11nti Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n’omukono gwo ogw’amaanyi: kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng’emirimu gyo bwe giri era ng’ebikolwa byo eby’amaanyi bwe biri? 253:25 Kuv 3:8, Yos 1:4Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni. 263:26 Ma 1:37Naye Mukama n’ansunguwalira nze ku bwammwe n’atampulira: Mukama n’aŋŋamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo. 273:27 Kubal 27:12,13Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n’obukiika obwa kkono n’obwa ddyo n’ebuvanjuba, olabe n’amaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno. 283:28 Kubal 27:18-20, Ma 1:38Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng’akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy’oliraba. 29Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.