Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


28

128:1 Kuv 15:26; 23:22, Leev 26:3, Ma 26:19Awo olunaatuukanga, bw’onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi: 2n’emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo. 328:3 Lub 39:5Onoobanga n’omukisa mu kibuga, era onoobanga n’omukisa mu kyalo. 428:4 Kuv 23:26, Ma 7:13Ekibala ky’omubiri gwo kinaabanga n’omukisa, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ekibala ky’ekisibo kyo, ezzadde ly’ente zo n’abaana b’embuzi zo. 5Ekibbo kyo kinaabanga n’omukisa n’olutiba lwo olw’okugoyeramu. 628:6 Zab 121:8 Onoobanga n’omukisa bw’onooyingiranga, era onoobanga n’omukisa bw’onoofulumanga. 728:7 Kuv 23:22,27Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu. 828:8 Leev 25:21, Ma 12:7; 15:4, Nge 3:10Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by’oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 928:9 Kuv 19:5,6, Ma 7:6Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw’onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 1028:10 Kubal 6:27, Ma 2:25Awo amawanga gonna ag’oku nsi ganaalabanga ng’otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga. 1128:11 Ma 28:4; 30:9 Era Mukama anaakugaggawazanga olw’ebirungi, mu bibala by’omubiri gwo ne mu bibala by’ensolo zo ne mu bibala by’ettaka lyo, mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. 1228:12 Leev 26:4, Ma 11:14; 14:29; 15:6Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y’ensi yo mu budde bwayo, n’okuwa omukisa omulimu gwonna ogw’omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi, so teweewolanga. 13Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi; bw’onoowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, bye nkukuutira leero, okubikwatanga n’okubikolanga; 1428:14 Ma 5:32n’olema okukyamanga okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza.

1528:15 Leev 26:14, Kung 2:17, Dan 9:11,13, Mal 2:2Naye olulituuka, bw’otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n’amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako. 1628:16-19 Ma 28:3-6Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo. 17Ekibbo kyo kirikolimirwa n’olutiba lwo olw’okugoyeramu. 18Ebibala by’omubiri gwo birikolimirwa, n’ebibala by’ettaka lyo, ezzadde ly’ente zo, n’abaana b’embuzi zo. 19Onookolimirwanga bw’onooyingiranga era onookolimirwanga bw’onoofulumanga. 2028:20 Yos 23:16, Zab 80:16, Is 51:20; 66:15, Mal 2:2Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n’okulemwa n’okunenyezebwa, mu byonna by’oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa, n’okutuusa lw’olifaafaagana amangu; olw’obubi bw’ebikolwa byo ebyakunsengusa. 2128:21 Leev 26:25, Kubal 14:12Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw’alikumalawo okuva ku nsi, gy’oyingiramu okugirya. 2228:22 Leev 26:16, 1 Bassek 8:37, Am 4:9, Kag 2:17Mukama anaakukubanga akakono, n’omusujja, n’okuzimba, n’okwokya okungi, n’ekitala, n’okwonooneka, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira. 2328:23 Leev 26:19N’eggulu lyo eriri waggulu ku mutwe gwo linaabanga kikomo, n’ettaka eriri wansi wo linaabanga kyuma. 24Mukama anaafuulanga enkuba ey’ensi yo okuba effufugge n’enfuufu: mu ggulu mwe nnaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw’olizikirizibwa. 2528:25 Leev 26:17, Ma 28:7; 32:30, 2 Byom 29:8, Yer 15:4; 24:9, Ez 23:46Mukama anaakukubanga mu maaso g’abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’ensi. 2628:26 Yer 7:33N’omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, era kya nsolo ez’oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula. 2728:27 Kuv 9:9, Leev 21:20, Am 4:10Mukama anaakuleetangako ejjute ery’e Misiri, n’amabwa, n’olukonvuba n’obuwere ebitakuwonyezekako. 2828:28 Zek 12:4Mukama anaakuleetangako eddalu n’obuzibe bw’amaaso n’okusamaalirira kw’omutima: 2928:29 Yob 5:14, Is 59:10era onoowammantanga mu ttuntu, ng’omuzibe w’amaaso bw’awammantira mu kizikiza, so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola. 3028:30 Yer 8:10, Am 5:11, Zef 1:13Onooyogerezanga omukazi, n’omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw’emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo. 31Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga. 3228:32 2 Byom 29:9, Yo 3:6Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw’okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw’omukono gwo. 3328:33 Leev 26:16, Nek 9:37, Is 62:8Ebibala by’ettaka lyo, n’emirimu gyo gyonna, eggwanga ly’otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna: 34n’okulaluka n’olaluka olw’okulaba kw’amaaso go kw’onoolabanga. 3528:35 Ma 28:17Mukama anaakulwazanga amaviivi n’amagulu ejjute ebbi, ly’otowonyezeka, okuva munda w’ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw’omutwe gwo. 3628:36 2 Bassek 17:4,6; 24:12,14; 25:7,11, 2 Byom 33:11, Yer 16:13Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw’oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly’otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n’amayinja. 8 3728:37 1 Bassek 9:7, Yer 24:9Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n’ekigambo eky’obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga. 3828:38-40 Yo 1:4, Mi 6:15, Zef 1:13, Kag 1:6Onoofulumyanga mu nnimiro ensigo nnyingi, onooyingizanga ntono; kubanga enzige eneegiryanga. 39Onoosimbanga ensuku z’emizabbibu n’ozirima, naye toonywenga ku nvinnyo yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga. 40Onoobanga n’emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga omuzeyituuni gwo gunaakunkumulanga ebibala byagwo. 4128:41 Kung 1:5Olizaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe. 42Emiti gyo gyonna n’ebibala by’ettaka lyo enzige eneebiryanga. 43Munnaggwanga ali wakati mu ggwe aneeyongerayongeranga okulinnya waggulu okukusinga; naawe oneeyongerayongeranga okukka wansi. 4428:44 Ma 28:12,13Anaakuwolanga, naawe toomuwolenga: anaabanga mutwe, naawe onoobanga mukira. 4528:45 Ma 28:15Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw’olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n’amateeka ge bye yakulagira: 4628:46 Is 8:18era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n’ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna: 4728:47 Nek 9:35kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n’essanyu era n’omutima ogujaguza, olw’ebintu byonna okuba ebingi: 4828:48 Yer 28:14kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b’anaasindikanga okukulumba, ng’olumwa enjala n’ennyonta, era ng’oli bwereere, era ng’obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky’ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw’alimala okukuzikiriza. 4928:49 Is 5:26; 33:19, Yer 5:15; 6:22; 48:40, Kaab 1:8Mukama alikuleetako eggwanga ng’aliggya wala mu nkomerero y’ensi, ng’empungu bw’ebuuka; eggwanga ly’otolitegeera lulimi lwalyo; 5028:50 2 Byom 36:17, Yer 6:23eggwanga ery’obwenyi obukambwe, eritalitya maaso ga bakadde so teririsaasira bato: 5128:51 Ma 28:33, Is 1:7, Yer 5:17era anaalyanga ebibala by’ensolo zo, n’ebibala by’ettaka lyo, okutuusa lw’olizikirizibwa: era eritalikulekera ŋŋaano, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly’ente zo, newakubadde abaana b’embuzi zo, okutuusa lw’alikuzikiriza. 5228:52 2 Bassek 17:5; 25:1Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empanvu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna mu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy’akuwadde. 5328:53 Leev 26:29, 2 Bassek 6:28,29, Yer 19:9, Kung 2:20Era onoolyanga ebibala by’omubiri gwo ggwe, ennyama y’abaana bo ab’obulenzi n’ab’obuwala Mukama Katonda wo b’akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga. 5428:54 Ma 15:9Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n’eri omukazi ow’omu kifuba kye, n’eri abaana be abasigadde abakyaliwo: 55n’obutawa n’atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y’abaana be b’anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw’anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna. 56Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa ku ttaka kigere kye olw’okwenaanya n’obugonvu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow’omu kifuba kye, n’eri mutabani we, n’eri muwala we; 57n’eri omwana we omuto afuluma wakati w’ebigere bye, n’eri abaana be b’alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw’okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw’anaakuziyizanga mu miryango gyo. 5828:58 Kuv 6:3, Zab 99:3, Is 29:23, Mal 1:14Bw’otookwatenga bigambo byonna eby’omu mateeka gano ebiwandiikiddwa mu kitabo kino okubikolanga, olyoke otyenga erinnya lino ery’ekitiibwa era ery’entiisa, Mukama Katonda wo; 59awo Mukama anaafuulanga ebibonyoobonyo eby’ekitalo, n’ebibonyoobonyo by’ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo. 6028:60 Kuv 15:26, Am 4:10Era anaakuleetangako nate endwadde zonna ez’e Misiri ze watyanga; era zineegattanga naawe. 61Era na buli ndwadde na buli kibonyoobonyo ekitawandiikiddwa mu kitabo eky’amateeka gano, ebyo Mukama anaabikuleetangako, okutuusa lw’olizikirizibwa. 6228:62 Ma 4:27; 10:22, Is 6:9,10; 63:17, Ez 12:2, Mat 13:13, Yok 8:43, Bar 11:8,10, Ma 8:2,4Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng’emmunyeenye ez’omu ggulu olw’obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo. 6328:63 Nge 1:26, Is 62:5, Yer 32:41, Ez 5:13, Zef 3:17Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n’okubaaza; bw’atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy’oyingira okugirya. 6428:64 Leev 26:33, Ma 4:28; 28:36, Yer 16:13; 19:4, Luk 21:24Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okuva ku nkomerero y’ensi okutuusa ku nkomerero y’ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b’otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja. 6528:65 Leev 26:36, Ez 21:7, Am 9:4Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n’ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n’amaaso agaziba, n’emmeeme ekoozimba, 66n’obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n’ekiro, so toobengako kw’otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba: 6728:67 Yob 7:4enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw’okutya kw’omutima gwo kw’onootyanga, n’olw’okulaba kw’amaaso go kw’onoolabanga. 6828:68 Ma 17:16, Yer 43:7, Kos 8:13; 9:3Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n’amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n’abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda