
27
1Awo Musa n’abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti Mwekuumenga ekiragiro kyonna kye mbalagira leero. 227:2 Yos 4:1Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n’ogasiigako ennoni: 327:3 Yos 8:32, Ma 19:14era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby’amateeka gano, bw’olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza. 427:4 Ma 11:29, Yos 8:30Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani, ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, n’ogasiigako ennoni. 5Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky’amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma. 6Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw’onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo: 7era onoosalanga ebiweebwayo olw’emirembe, n’oliiranga eyo; era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo. 8Era oliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago ebigambo byonna eby’amateeka gano.
9Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. 10Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’okolanga ebiragiro bye n’amateeka ge, bye nkulagira leero.
11Awo Musa n’akuutira abantu ku lunaku olwo, ng’ayogera 1227:12,13 Ma 11:29, Yos 8:33nti Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini: 13era bano be baliyimirira ku lusozi Ebali olw’okukolima; Lewubeeni, Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, Ddaani, ne Nafutaali. 1427:14 Ma 33:10Kale Abaleevi baliddamu ne bagamba abasajja bonna aba Isiraeri n’eddoboozi ddene nti
1527:15 Kuv 20:4; 34:17, Kubal 5:22, 1 Byom 16:36, Yer 11:5Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky’omuzizo eri Mukama, omulimu gw’engalo z’omukozi, n’akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.
1627:16 Kuv 20:12; 21:17Akolimirwe oyo anyooma kitaawe oba nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
1727:17 Ma 19:14Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
1827:18 Leev 19:4Akolimirwe oyo akyamya omuzibe w’amaaso okuva mu kkubo. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
1927:19 Yos 8:30, Kuv 22:21,22Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n’atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2027:20 Leev 18:8, Ma 22:30, 1 Kol 5:1Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2127:21 Kuv 22:19Akolimirwe oyo asula n’ensolo yonna yonna. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2227:22 Leev 18:9Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2327:23 Leev 20:14Akolimirwe oyo asula ne mukoddomi we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2427:24 Kuv 21:14, Ma 19:11Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2527:25 Kuv 23:7, Ma 16:19, Zab 15:5, Ez 22:12Akolimirwe oyo alya empeera olw’okuttisa omuntu ataliiko musango. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
2627:26 Yer 11:3, Bag 3:10Akolimirwe oyo atanyweza bigambo bya mateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.