
23
1Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
323:3 Luus 4:5Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna: 423:4 Kubal 22:4,6, Ma 2:29, Yos 24:9kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n’amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okukukolimira. 523:5 23:5 Kubal 23:11; 24:10, Nge 26:2Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n’afuula ekikolimo okuba omukisa gy’oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala. 623:6 Ezer 9:12Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.
723:7 Lub 25:24-26, Kuv 22:21; 23:9, Leev 19:34, Kubal 20:14Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. 8Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
9Bw’otabaalanga mu nsiisira okulwana n’abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi. 1023:10,11 Leev 15:16Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw’ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w’olusiisira: 11naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n’amazzi: kale enjuba bw’emalanga okugwa, n’ayingiranga mu lusiisira. 12Era onoobanga n’ekifo ebweru w’olusiisira, gy’onoofulumanga: 13era onoobanga n’ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw’onoofulumanga n’otuula, onookisimyanga n’okyuka n’obikka ku ekyo ekinaakuvangamu: 1423:14 Leev 26:12kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati mu lusiisira lwo, okukuwonya, n’okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega.
1523:15 1 Sam 30:15Tozzanga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy’oli: 16anaatuulanga naawe, wakati mu ggwe, mu kifo ky’anaayagalanga munda w’enzigi zo olumu, w’anaasinganga okusiima: tomujooganga.
1723:17 Leev 19:29, 1 Bassek 14:24, 2 Bassek 23:7Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri. 18Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y’embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw’obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
1923:19 Kuv 22:25, Leev 25:36,37, Nek 5:10, Zab 15:5Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag’effeeza, amagoba ag’ebyokulya, amagoba ag’ekintu kyonna ekiwolwa olw’amagoba: 2023:20 Ma 15:3,10munnaggwanga si kibi okumuwola olw’amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’oteekako omukono gwo, mu nsi gy’oyingiramu okugirya.
2123:21 Kubal 30:2, Mub 5:4,5Bw’oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy’oli: era kyandibadde kibi mu ggwe. 22Naye bw’olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe. 2323:23 Zab 66:13,14Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n’okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n’akamwa ko.
24Bw’oyingiranga mu lusuku olw’emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw’oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.
2523:25 Mak 2:23Bw’oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n’engalo zo; naye toteekanga kiwabyo ku ŋŋaano etennakungulwa eya munno.