
20
120:1 Ma 31:6,8, Yos 17:18, Zab 20:7, Is 31:1; 41:10Bw’otabaalanga okulwana n’abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y’e Misiri. 2Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n’ayogera n’abantu, 3n’abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n’abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira; 420:4 Ma 1:30; 3:22, Yos 23:10kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola. 5Era abaami banaayogeranga n’abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n’agitukuza. 6Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw’emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo. 7Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n’amuwasa. 820:8 Balam 7:3Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng’omutima gwe. 9Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n’abantu, banassangawo abakulu b’eggye okukulembera abantu.
1020:10 Ma 2:26, Balam 21:13, 2 Sam 20:20Bw’onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n’olyoka okirangiriranga emirembe. 1120:11 1 Bassek 9:21Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby’emirembe, ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab’omusolo, era banaakuweerezanga. 12Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n’olyoka okizingizanga: 1320:13 Kubal 31:7era Mukama Katonda wo bw’anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n’obwogi bw’ekitala: 1420:14 Kubal 31:9, Yos 8:2naye abakazi n’abaana abato n’ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw’abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa. 15Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano. 1620:16 Kubal 21:35; 33:52, Yos 11:14Naye ku bibuga by’abantu bano, Mukama Katonda wo b’akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa: 1720:17 Ma 7:1,2naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n’Omwamoli, Omukanani, n’Omuperizi, Omukiivi, n’Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: 1820:18 Kuv 23:33, Ma 7:4; 12:30,31balemenga okubayigiriza okukola ng’eby’emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleranga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.
1920:19 2 Bassek 3:19,25Bw’onoomalanga ebiro bingi ng’ozingizza ekibuga, ng’olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng’ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw’omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo? 20Emiti egyo gyokka gy’omanyi nga si miti gya kulyako, gy’onoozikirizanga gy’onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa.