
16
116:1-8 Kuv 12:2-20, Kuv 13:4Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro. 216:2 Ma 12:5Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky’alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. 3Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng’olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey’okunakuwala; kubanga wava mu nsi y’e Misiri ng’oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y’e Misiri ennaku zonna ez’obulamu bwo. 4So tewalabikanga gy’oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy’onottanga ku lunaku olw’olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde. 5Tottiranga Kuyitako munda w’oluggi lwonna ku nzigi zo, Mukama Katonda wo z’akuwa: 6naye mu kifo Mukama Katonda wo ky’alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy’onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng’egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri. 7Era onookwokyanga n’okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky’alyeroboza: era onookyukanga enkya, n’ogenda mu weema zo. 8Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw’omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimi gwonna.
916:9 Kuv 23:16; 34:22, Leev 23:15Oneebaliranga ssabbiiti musanvu: okuva ku biro by’otanuliramu okussa ekiwabyo ku ŋŋaano ng’ekyali mu nnimiro kw’onoosookeranga okubala ssabbiiti omusanvu. 1016:10 Leev 23:16, Kubal 28:26, 1 Kol 16:2Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng’omuwa omusolo ogw’ekyo ky’owaayo ku bubwo eky’omukono gwo, ky’onoowangayo nga Mukama Katonda wo bw’akuwa omukisa: 1116:11 Ma 12:18era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n’omuddu wo n’omuzaana wo n’Omuleevi ali munda w’enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky’alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. 1216:12 Ma 15:15Era onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri era onookwatanga onookolanga amateeka gano.
1316:13 Kuv 23:16, Leev 23:34,39-42Oneekuumiranga embaga ey’ensiisira ennaku musanvu, bw’onoobanga omaze okutereka eby’omugguuliro lyo n’eby’omu ssogolero lyo: 1416:14,15 Ma 16:11; 26:11era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n’omuddu wo n’omuzaana wo, n’Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w’enzigi zo. 15Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw’engalo zo, era onoobanga n’essanyu jjereere. 1616:16 Kuv 23:14-17Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’alyeroboza: ku mbaga ey’emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey’ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu: 1716:17 Ma 12:15, Ez 46:5, 2 Kol 8:12buli muntu anaawanga nga bw’anaayinzanga, ng’omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw’akuwadde.
1816:18 Ma 1:16, 1 Byom 23:4, 2 Byom 19:5Abalamuzi n’abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z’akuwa, ng’ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy’ensonga. 1916:19 Kuv 23:2,8, Leev 19:15, Ma 1:17; 24:17; 27:19, Am 5:12Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g’ab’amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by’abatuukirivu. 20Eby’obutuukirivu ddala by’onoogobereranga, olyoke obenga omulamu, osikire ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
2116:21 Kuv 34:13, Balam 6:25, 1 Bassek 14:15; 16:33, 2 Bassek 13:6; 21:3, Is 17:8Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g’ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky’oneekoleranga. 2216:22 Kuv 23:24, Yer 43:13So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy’akyawa.