
11
111:1 Ma 6:5Kale onooyagalanga Mukama Katonda wo, ne weekuuma bye yakuutira n’amateeka ge n’emisango gye n’ebiragiro bye ennaku zonna. 211:2 Ma 3:24; 8:5Era mumanye leero: kubanga soogera na baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez’amaanyi, n’omukono gwe ogwagololwa, 311:3 6:22n’obubonero bwe, n’emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri Falaawo kabaka w’e Misiri n’ensi ye yonna; 411:4 Kuv 14:27,28era kye yakolera eggye ery’e Misiri, embalaasi zaabwe n’amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag’Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero; 511:5 Zab 78:14,15,24,27era bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; 611:6 Kubal 16:1,31,32, Zab 106:17era kye yakola Dasani ne Abiramu, abaana ba Eriyaabu, omwana wa Lewubeeni; ensi bwe yayasamya akamwa kaayo, n’ebamira bugobo, n’ab’omu nnyumba zaabwe, n’eweema zaabwe na buli kintu kiramu ekyabagoberera, wakati mu Isiraeri yenna: 7naye amaaso gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu ogwa Mukama gwe yakola. 811:8 Yos 1:6,7Kale muneekuumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n’amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya; 911:9 Kuv 3:8, Ma 4:40era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okugibawa n’ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki. 10Kubanga ensi gy’oyingiramu okugirya, tefaanana ng’ensi y’e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n’ogifukirira amazzi n’ekigere kyo, ng’ennimiro y’enva: 1111:11 Ma 8:7nate ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye nsi ey’ebiwonvu n’ensozi, enywa amazzi ag’enkuba eva mu ggulu: 1211:12 1 Bassek 9:3, Yer 24:6ensi Mukama Katonda wo gy’ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo.
1311:13 Ma 6:5Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n’okumuweereza n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna, 14naatonnyesanga enkuba y’ensi yammwe mu ntuuko zaayo, enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, okungulenga eŋŋaano yo n’envinnyo yo n’amafuta go. 1511:14,15 Leev 26:4, Zab 104:14, Yo 2:19,23Era naawanga omuddo mu nnimiro zo olw’ebisibo byo, era onoolyanga n’okkuta. 1611:16 Ma 6:14Mwekuumenga omutima gwammwe guleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza; 1711:17 Ma 4:26; 6:15, 1 Bassek 8:35, 2 Byom 7:13obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n’aggalawo eggulu, enkuba obutatonnyanga, n’ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy’abawa. 1811:18 Ma 6:6-9Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby’oku kyenyi wakati w’amaaso gammwe. 19Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumya, bw’onootuulanga mu nnyumba yo era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga. 20Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy’ennyumba yo ne ku nzigi zo: 2111:21 Ma 4:40, Zab 89:29ennaku zammwe zeeyongerenga, n’ennaku ez’abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng’ennaku ez’eggulu eriri waggulu w’ensi. 22Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okwegatta naye; 2311:23 Ma 4:38; 9:1Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mulya amawanga agabasinga obunene n’amaanyi. 2411:24 Lub 15:18, Kuv 23:31, Ma 34:2, Yo 1:3Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga, omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey’omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe. 2511:25 Kuv 23:27, Ma 2:25; 7:4Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n’entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
2611:26Ma 30:1,19Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’okukolimirwa; 2711:27 Ma 28:2-14omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero: 28n’okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga.
2911:29 Ma 27:12,13, Yok 8:33Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw’alikuyingiza mu nsi gy’ogendamu okugirya, oliteeka omukisa ogwo ku lusozi Gerizimu, n’okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali. 30Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w’ekkubo ery’ebugwanjuba, mu nsi ey’Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g’emyera gya Mole? 31Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa, era muligirya, ne mutuula omwo. 32Era munaakwatanga okukola amateeka gonna n’emisango bye nteeka mu maaso gammwe leero.