
10
110:1,2 Kuv 25:10,16; 34:1,2Mu biro ebyo Mukama n’aŋŋamba nti Weetemere ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana ng’eby’olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, weekolere essanduuko ey’omuti. 2Era nnaawandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby’olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko. 310:3 Kuv 34:4; 37:1Awo ne nkola essanduuko ey’omuti gwa sita, ne ntema ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana ng’eby’olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange. 410:4 Kuv 19:17; 20:1; 34:28N’awandiika ku bipande, ng’okuwandiika okw’olubereberye bwe kwali, amateeka ekkumi, Mukama ge yababuulira ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro ku lunaku olw’okukuŋŋaanirako: Mukama n’abimpa. 510:5 Kuv 34:29; 40:20, 1 Bassek 8:9Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira. 610:6 Kubal 20:28; 33:31,38(Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n’afiira eyo, era eyo gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n’aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye. 710:7 Kubal 33:32,33Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey’emigga egy’amazzi. 810:8 Kubal 3:6; 4:15; 8:14, Ma 21:5Mu biro ebyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama okumuweerezanga, n’okwebazanga erinnya lye, ne leero. 910:9 Kubal 18:20,24Leevi kyava alema okuba n’omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda be; Mukama bwe busika bwe, nga Mukama Katonda wo bwe yamugamba.) 1010:10 Ma 9:18,19Ne mmala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ku lusozi, ng’omulundi ogw’olubereberye: Mukama n’ampulira n’omulundi ogwo; Mukama nga tagenda kukuzikiriza. 1110:11 Kuv 32:34; 33:1Mukama n’aŋŋamba nti Golokoka, otambule ku lugendo lwo ng’okulembera abantu; era baliyingira balirya ensi gye nnalayirira bajjajja baabwe okubawa.
1210:12,13 6:2,5,13,24; 7:11Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, 13okwekuumanga ebiragiro bya Mukama n’amateeka ge, bwe nkulagira leero olw’obulungi bwo? 1410:14 Nek 9:6, Zab 24:1; 115:16Laba, Mukama Katonda wo ye nnannyini ggulu, n’eggulu erya waggulu, ensi era n’ebigirimu byonna. 1510:15 Ma 4:37Mukama yasanyukira busanyukizi bajjajja bo okubaagala, n’alonda ezzadde lyabwe eryaddawo, ye mmwe okusinga amawanga gonna, nga leero. 1610:16 Kuv 32:9, Leev 26:41, Yer 4:4Kale mukomole ekikuta ky’omutima gwammwe, so temubanga nate ba nsingo nkakanyavu. 1710:17 2 Byom 19:7, Nek 9:32, Yob 34:19, Zab 136:2,3, Dan 2:47, Bik 10:34, Bar 2:11, Bag 2:6, Bef 6:9, Bak 3:25, 1 Peet 1:17, Kub 17:14Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era Mukama w’abaami, Katonda omukulu, ow’amaanyi era ow’entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi. 1810:18 Zab 68:5; 146:9Asalira omusango mulekwa ne nnamwandu, era ayagala munnaggwanga, ng’amuwa ebyokulya n’ebyokwambala. 1910:19 Kuv 22:21Kale mwagalenga munnaggwanga: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri. 2010:20 Ma 6:13; 11:22Onootyanga Mukama Katonda wo; oyo gw’onooweerezanga; era oyo gw’oneegattanga naye, n’erinnya lye ly’onoolayiranga. 2110:21 Zab 22:3; 106:21,22, Yer 17:14Oyo lye ttendo lyo, era ye Katonda wo, eyakukolera ebyo ebikulu era eby’entiisa, amaaso go bye gaalaba. 2210:22 Lub 46:27, Ma 1:10Bajjajja bo baaserengeta mu Misiri nga bali abantu nsanvu; ne kaakano Mukama Katonda wo akufudde ng’emmuyeenye ez’omu ggulu olw’obungi.