
11
111:1 Dan 9:1Nange, mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumunyweza n’okumuwa amaanyi.
211:2 Dan 8:21; 10:21Ne kaakano naakulaga amazima. Laba, waliyimirira nate bakabaka abasatu mu Buperusi: n’ow’okuna ye alisingira ddala nnyo bonna obugagga: era bw’alifuuka ow’amaanyi olw’obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n’obwakabaka obw’e Buyonaani, 3Ne kabaka ow’amaanyi aliyimirira, alifuga n’obuyinza obungi, era alikola bw’alyagala. 4Era bw’aliyimirira, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu eri empewo ennya ez’omu ggulu: naye tebuligabirwa zzadde lye, so tebuliba ng’okufuga kwe kwe yafuga: kubanga obwakabaka bwe bulisimbulwa, bulisimbulirwa abalala awali abo. 5Ne kabaka w’obukiika obwa ddyo aliba n’amaanyi, era omu ku bakulu be: n’oyo aliba n’amaanyi okumusinga, alifuga: okufuga kwe kuliba okufuga okunene. 6Emyaka bwe girimala okuyitawo balyegatta wamu: n’omuwala wa kabaka w’obukiika obwa ddyo alijja eri kabaka w’obukiika obwa kkono okulagaana: naye omuwala taliba na maanyi ga mukono gwe: so n’oyo taliyimirira, newakubadde omukono gwe: naye omuwala aliweebwayo, n’abo abaamuleeta, n’oyo eyamuzaala, n’oyo eyamuwa amaanyi mu biro ebyo. 7Naye mu mwana ow’omu bikolo bye muliva omu aliyimirira mu kifo kye, alijja eri eggye, era aliyingira mu kifo kya kabaka w’obukiika obwa kkono, alibalumba, era aliwangula; 8era ne bakatonda baabwe, n’ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n’ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n’ebya zaabu, alibinyaga alibitwala mu Misiri: era alimala emyaka egimu ng’aleka kabaka w’obukiika obwa kkono. 9Era alijja mu matwale ga kabaka w’obukiika obwa ddyo, naye aliddayo mu nsi ye. 1011:10 Is 8:8, Dan 11:40N’abaana be balirwana, era bali kuŋŋaanya ekibiina ekinene, eggye eringi, eririyitirira, eriryanjaala, ne libayitamu: era balikomawo, balirwana, okutuuka awali ekigo kye. 11Ne kabaka w’obukiika obwa ddyo alisunguwala, alivaayo, alirwana naye, kabaka w’obukiika obwa kkono: era aligaba ekibiina ekinene, n’ekibiina kiriweebwayo mu mukono gwe. 12N’ekibiina kiryegulumiza, n’omutima gwe gulyeyimusa: era alimegga obukumi obungi, naye taliwangula. 13Ne kabaka w’obukiika obwa kkono alikomawo, era aligaba ekibiina ekisinga eky’olubereberye: era alijja ebiseera bwe biriggwaako, gye myaka, ng’alina eggye eddene n’ebintu ebingi. 14Ne mu biro ebyo walibaawo abangi abaliyimirira okulwana ne kabaka w’obukiika obwa ddyo: era n’abaana b’abo abalina ettima mu bantu bo balyegolokosa okunyweza ebikwolesebbwa: naye baligwa. 15Awo kabaka w’obukiika obwa kkono alijja, alikuba olusozi, alirya ekibuga ekiriko ebigo ebingi: n’emikono egy’obukiika obwa ddyo tegiribasobola, newakubadde abantu be abalonde, so tewaliba maanyi gonna okubasobola. 1611:16 Dan 8:9Naye oyo ajja okumulumba alikola nga bw’ayagala ye, so tewaliba ayimirira mu maaso ge: era aliyimirira mu nsi ey’ekitiibwa, ne mu mukono gwe mulibaamu okuzikiriza. 17Awo alikyusa amaaso ge okujja n’amaanyi ag’obwakabaka bwe bwonna, n’ab’amazima nga bali wamu naye: era alikola by’alyagala: era alimuwa omuwala w’abakazi, okumwonoona: naye taliyimirira, so talimuyamba ye. 18Oluvannyuma lw’ebyo alikyusa amaaso ge awali ebizinga, aliryako bingi: naye omukulu alikomya ekivume oyo kye yaleeta: era naye alimuddizaayo ekivume kye. 19N’alyoka akyusa amaaso ge awali ebigo eby’omu nsi ye ye: naye alyesittala, aligwa, so talirabika. 20Ne walyoka wayimirira mu kifo kye omu aliyisa omusolooza mu kitiibwa eky’obwakabaka: naye mu nnaku si nnyingi alizikirizibwa, si mu busungu, newakubadde mu ntalo. 21Ne mu kifo kye muliyimirira omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby’emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw’okwegonza. 22Era n’emikono gy’amataba baliggirwawo ddala mu maaso ge, era balimenyeka: weewaawo, era n’omukulu w’endagaano. 23Era nga bamaze okulagaana naye alikola eby’obukuusa: kubanga alirinnya, era alifuuka ow’amaanyi, ng’alina abantu si bangi. 24Mu biro eby’emirembe alijjira n’ebifo ebisinga obugimu eby’omu ssaza: era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe: alibagabira omwandu n’omunyago n’obugagga: weewaawo, alisalira enkwe ze ebigo, okumala ekiseera. 25Era alisasamaza obuyinza bwe n’obuzira bwe okulwanyisa kabaka w’obukiika obwa ddyo n’eggye eringi: ne kabaka w’obukiika obwa ddyo alirwana entalo n’eggye eringi ennyo, ery’amaanyi amangi: naye taliyimirira, kubanga balimusalira enkwe. 26Weewaawo, abaalya ku mmere ye be balimuzikiriza, n’eggye lye liryanjaala: era bangi abaligwa nga battibwa. 2711:27 Dan 11:40Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balyogera eby’obulimba nga batudde ku mmeeza emu: naye tebiriraba mukisa: kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa era. 28N’alyoka addayo mu nsi ye n’obugagga obungi: n’omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by’alyagala, n’alyoka addayo mu nsi ye. 29Mu biro ebyalagirwa aliddayo, aligenda mu bukiika obwa ddyo: naye mu biro eby’oluvannyuma tekiriba nga bwe kyali mu biro eby’olubereberye. 30Kubanga ebyombo eby’e Kittimu birijja okumulumba: kyaliva anakuwala, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by’alyagala: aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu. 3111:31 Dan 8:13; 12:11, Mak 13:14Era emikono giriyimirira ku luuyi lwe, era baligwagwawaza awatukuvu, kye kigo, era baliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna, baliyimiriza eky’omuzizo ekizikiriza. 32N’abo abalikola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya n’okwegonza: naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n’amaanyi, balikola eby’obuzira. 3311:33 Dan 12:3,10N’abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n’omuliro okusibibwa n’okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi. 34Awo bwe baligwa, balibeerwa n’okubeerwa okutono: naye bangi abalyegatta nabo n’okwegonza. 3511:35 Mal 3:3,4, Kub 7:14N’abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n’okubalongoosa, n’okubatukuza, okutuusa ku kiseera eky’enkomerero: kubanga kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka. 3611:36 Ma 10:17, Is 10:25, Dan 7:25; 9:27, 2 Bas 2:4, Kub 13:5,6Ne kabaka alikola nga bw’alyagala: era alyegulumiza, alyekuza okusinga katonda yenna, era alyogera eby’ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga ebyateesebwa birikolebwa. 37So talirowooza bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza katonda yenna: kubanga alyekuza okusinga bonna. 38Naye mu kifo kye aliwa ekitiibwa katonda w’ebigo: era katonda bajjajjaabe gwe bataamanya alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebintu ebisanyusa. 39Era aliyinza ebigo eby’amaanyi amangi katonda omugenyi ng’amuyamba: buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa: era alibawa okufuga bangi, era aligaba ensi olw’omuwendo. 4011:40 Dan 11:27Ne mu kiseera eky’enkomerero kabaka w’obukiika obwa ddyo alimusindika: ne kabaka w’obukiika obwa kkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng’alina amagaali, n’abeebagala embalaasi, n’ebyombo ebingi: era aliyingira mu matwale alyanjaala, n’agayitamu. 4111:41 Dan 8:9Era aliyingira ne mu nsi ey’ekitiibwa, n’amatwale mangi agalisuulibwa: naye bano baliwonyezebwa mu mukono gwe, Edomu, ne Mowaabu, n’abakulu ab’omu baana ba Amoni. 42Era aligolola omukono gwe ne ku matwale: n’ensi y’e Misiri teriwona. 43Naye aliyinza ebintu ebitereke ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’ebintu byonna eby’omuwendo omungi eby’omu Misiri: n’Abalibya n’Abaesiyopya balimugoberera. 44Naye ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n’okumalirawo ddala abangi. 45Era alisimba eweema z’olubiri lwe wakati w’ennyanja n’olusozi olw’ekitiibwa olutukuvu: era naye alijja ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.