
9
19:1 Balam 16:26-30Nalaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto: n’ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy’abo bonna; era nditta n’ekitala ow’enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n’omu. 29:2,3 Zab 139:8,9Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo. 3Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw’ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma. 49:4 Yer 21:10Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g’abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw’okuleeta obubi so si bulungi. 59:5 Zab 46:6Kubanga Mukama, Katonda ow’eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n’esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw’e Misiri; 69:6 Zab 104:3ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag’omu nnyanja n’agafuka ku maaso g’olunalu; Mukama lye linnya lye. 79:7 Yer 47:4, Am 1:5Mmwe temuli ng’abaana b’Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw’ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y’e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n’Abasuuli e Kiri? 89:8 Yer 30:11Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g’ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw’ayogera Mukama. 99:9 Is 30:28, Luk 22:31Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng’eŋŋaano bw’ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka. 109:10 Am 6:3Abalina ebibi bonna ab’omu bantu bange balifa n’ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebalitukulembera. 119:11,12 Bik 15:16-18Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez’edda; 12balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n’amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw’ayogera Mukama akola kino. 139:13 Leev 26:5, Yo 3:18Laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, akabala lw’alituuka ku oyo akungula, n’oyo asamba ezabbibu lw’alituuka ku oyo asiga ensigo; n’ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n’obusozi bwonna bulisaanuuka. 149:14 Is 61:4, Yer 31:5Era ndikomyawo obusibe bw’abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu. 159:15 Yer 24:6Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw’ayogera Mukama Katonda wo.