
22
122:1 Kuv 15:1, 1 Byom 16:7Awo Dawudi n’agamba Mukama ebigambo eby’oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw’abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo: 222:2 Ma 32:4, Zab 28:8; 31:3; 71:3; 91:2; 144:2n’ayogera nti
Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze;
322:3 Lub 15:1, 1 Sam 2:1, 2 Sam 22:31,32,47, Zab 9:9; 46:7,11; 59:16; 62:2, Yer 16:19, Luk 1:69, Beb 2:13Katonda ow’olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga;
Engabo yange, era ejjembe ery’obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange;
Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo.
422:4 Zab 48:1; 96:4Naakaabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa:
Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.
522:5 Zab 42:7, Yon 2:3Kubanga amayengo ag’okufa gazingiza,
Amataba ag’obutatya Katonda ne gantiisa.
622:6 Zab 116:3Emigwa egy’emagombe gyanneetooloola:
Ebyambika eby’okufa byantuukako.
722:7 Zab 116:4; 120:1, Yon 2:2Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama,
Weewaawo, nakaabira Katonda wange:
N’awulira eddoboozi lyange ng’ayima mu yeekalu ye,
Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
822:8 Balam 5:4, Zab 77:18; 97:4Ensi n’eryoka esagaasagana n’ekankana,
Emisingi gy’eggulu ne gijjulukuka
Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.
922:9 Zab 97:3, Kaab 3:5, Kub 11:5Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
N’omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya:
Ne gukwata amanda.
1022:10 Kuv 20:21, 1 Bassek 8:12, Zab 97:2; 144:5, Is 64:1Yakutamya n’eggulu n’aserengeta;
Ekizikiza ekiziyivu ne kiba wansi w’ebigere bye.
1122:11 Zab 104:3Ne yeebagala kerubi n’abuuka:
Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by’empewo.
12N’afuula ekizikiza okuba eweema ezimwetooloola:
Amazzi we gakuŋŋaanira, ebire ebiziyivu eby’omu ggulu.
13Okumasamasa okwali mu maaso ge
Ne kwasa amanda ag’omuliro.
1422:14 Yob 37:4, Zab 29:3; 104:7, Is 30:30Mukama n’abwatuka ng’ayima mu ggulu,
Ali waggulu ennyo n’aleeta eddoboozi lye.
1522:15 Ma 32:23, Zab 7:13; 77:17; 144:6, Kaab 3:11N’alasa obusaale n’abasaasaanya;
N’aweereza okumyansa n’abeeraliikiriza.
1622:16 Kuv 15:8, Zab 104:5Awo ensalosalo ez’ennyanja ne ziryoka zirabika,
Emisingi gy’ensi ne gyeruka,
Olw’okunenya kwa Mukama,
Olw’okufuuwa omukka ogw’omu nnyindo ze.
1722:17 Zab 144:7Yatuma ng’ayima waggulu n’antwala;
N’ampalula n’anziya mu mazzi amangi;
18N’amponya eri omulabe wange ow’amaanyi,
Eri abo abaankyawa; kubanga bannyinga amaanyi.
19Bangwako ku lunaku kwe nnalabira ennaku:
Naye Mukama ye yannyweza.
2022:20 Zab 31:8; 118:5Era n’anfulumya n’andeeta mu kifo ekigazi:
Yamponya kubanga yansanyukira.
2122:21 1 Sam 26:23, Zab 7:8; 24:4Mukama yampa empeera ng’obutuukirivu bwange bwe bwali:
Ansasudde ng’obulongoofu bw’engalo zange bwe bwali.
22Kubanga nakuumanga amakubo ga Mukama,
So sivanga ku Katonda wange lwa kyejo.
23Kubanga emisango gye gyonna gy’abanga mu maaso gange:
N’amateeka ge sigavangamu.
2422:24 Lub 6:9; 17:1, Yob 1:1Era nabanga eyatuukirira eri ye,
Ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.
25Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe bwali:
Ng’obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
2622:26 Mat 5:7, Yak 2:13Awali ow’ekisa oneeraganga wa kisa,
Awali omuntu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu;
27Awali omulongoofu oneeraganga mulongoofu;
Era awali omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
2822:28 Zab 72:12,13, Is 2:11,12,17, Luk 1:51Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa:
Naye amaaso go gatunuulira ab’amalala obasse wansi.
2922:29 Yob 29:3, Zab 27:1Kubanga ggwe ttabaaza yange, ai Mukama:
Era Mukama alyakira ekizikiza kyange.
30Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina:
Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo.
3122:31 Ma 32:4, 2 Sam 22:3, Zab 5:12; 12:6; 33:20; 59:11, Nge 30:5, Mat 5:48Katonda ekkubo lye lyatuukirira:
Ekigambo kya Mukama kyakemebwa;
Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
3222:32 Ma 4:35, 1 Sam 2:2Kubanga ani Katonda wabula Mukama?
Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?
3322:33 2 Sam 22:2Katonda kye kigo kyange eky’amaanyi:
Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye.
3422:34 Ma 32:13; 33:29, Is 58:14Afuula ebigere bye okuba (ng’ebigere) by’ennangaazi:
Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu.
3522:35 Zab 144:1Ayigiriza engalo zange okulwana;
Emikono gyange ne gitega omutego ogw’ekikomo.
36Era ompadde engabo ey’obulokozi bwo:
N’obuwombeefu bwo bungulumizizza.
3722:37 Nge 4:12Wagaziya ebisinde byange wansi wange,
Ebigere byange ne bitaseerera.
38Nayigganya abalabe bange ne mbazikiriza;
So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39Era mbamazeewo ne mbafumitira ddala n’okuyinza ne batayinza kugolokoka:
Weewaawo, bagudde wansi w’ebigere byange.
4022:40 Zab 44:5Kubanga onsibye amaanyi ag’okulwana:
Owangudde wansi wange abo abangolokokerako.
4122:41 Kuv 23:27, Mak 12:36, 2 Peet 1:21Era abalabe bange obankubizza amabega,
Nzikirize abo abankyawa.
4222:42 1 Sam 28:6, Nge 1:28, Is 1:15, Mi 3:4Baatunula naye tewali wa kulokola;
Baatunuulira Mukama naye n’atabaddamu.
4322:43 2 Bassek 13:7, Is 10:6Awo ne mbasekulirasekulira ddala ng’enfuufu ey’oku nsi,
Nabasamba ng’ebitosi eby’omu nguudo ne mbasaasaanya.
4422:44 2 Sam 8:1-14Era omponyezza mu kuwakana kw’abantu bange;
N’onkuuma okuba omutwe gw’amawanga:
Eggwanga lye ssimanyanga lirimpeereza.
4522:45 Ma 33:29, Zab 66:3; 81:15Bannaggwanga balinjeemulukukira:
Nga kyebajje bampulire baliŋŋondera.
4622:46 Mi 7:17Bannaggwanga baliggweerera,
Era baliva mu bifo byabwe eby’ekyama nga bakankana.
4722:47 Ma 32:15, Zab 89:26; 95:1Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe;
Agulumizibwe Katonda ow’olwazi olw’obulokozi bwange:
4822:48 Zab 144:2Ye Katonda ampalanira eggwanga,
N’assa amawanga wansi wange,
49Era anziya mu balabe bange:
Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako:
Omponya eri omusajja ow’ekyejo.
5022:50 Bar 15:9Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga,
Ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
5122:51 2 Sam 7:12, Zab 89:20,29; 144:10Awa kabaka we obulokozi obunene:
Era amukola eby’ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta,
Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.