
23
123:1-3 2 Byom 34:29-32Awo kabaka n’atuma, ne bakuŋŋaanyiza gy’ali abakadde bonna aba Yuda n’ab’e Yerusaalemi. 223:2 Ma 31:11, 2 Bassek 22:8Kabaka n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n’abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n’abantu bonna, abato n’abakulu: n’asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby’ekitabo eky’endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama. 323:3 2 Bassek 11:14,17Kabaka n’ayimirira awali empagi n’alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n’okukwata amateeka ge n’ebyo bye yategeeza n’ebiragiro bye n’omutima gwe gwonna n’emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by’endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira okwesibira endagaano. 423:4,5 2 Bassek 21:3Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab’omutindo ogw’okubiri n’abaggazi, okufulumya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera n’eggye lyonna ery’omu ggulu: n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kiduloni, n’evvu lyabyo n’alitwala e Beseri. 5N’aggyawo bakabona abaasinza ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterereza obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n’abo abaayotererezanga obubaane Baali n’enjuba n’omwezi n’emmunyeenye n’eggye lyonna ery’omu ggulu. 623:6 Kuv 32:20, Ma 16:21, 2 Byom 34:4N’aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaalemi n’akireeta ku kagga Kiduloni n’akyokera ku kagga Kiduloni n’akirinnyirira n’akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g’abakopi. 723:7 1 Bassek 14:24N’amenyamenya ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa. 823:8 1 Bassek 15:22N’aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okutuuka e Beeruseba; n’amenyamenya ebifo ebigulumivu eby’oku nzigi ebyali awayingirirwa mu mulyango gwa Yoswa omukulu w’ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ogw’omuntu awali wankaaki w’ekibuga. 923:9 Ez 44:10-14Era naye bakabona ab’ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe. 1023:10 Leev 18:21, Yos 15:8, Yer 7:31,32; 19:11-14Era n’ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky’abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow’obulenzi newakubadde ow’obuwala mu muliro eri Moleki. 11N’aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n’ayokya amagaali g’enjuba omuliro. 1223:12 2 Bassek 21:5, Yer 19:13; 32:29N’ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n’ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez’ennyumba ya Mukama, kabaka n’abimenyamenya n’abisindika wansi okubiggyayo, n’asuula enfuufu yaabyo mu kagga Kiduloni. 1323:13 1 Bassek 11:5,7N’ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw’olusozi olw’obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi omuzizo gw’Abasidoni ne Kemosi omuzizo gwa Mowaabu ne Mirukomu omuzizo gw’abaana ba Amoni, kabaka n’abyonoona. 1423:14 Kuv 23:24N’amenyamenya empagi n’atema Baasera n’ajjuza ebifo byabwe amagumba g’abantu. 1523:15 1 Bassek 12:28,29,33Era n’ekyoto ekyali e Beseri n’ekifo ekigulumivu n’abimenya mutabani wa Nebati eyayonoonyesa Isiraeri kye yakola, ekyoto ekyo n’ekifo ekigulumivu n’ebimenyamenya; n’ayokya ekifo ekigulumivu n’akirinnyirira n’akifuula effufugge n’ayokya Asera. 1623:16 1 Bassek 13:2Awo Yosiya bwe yakebuka n’alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n’atuma n’aggya amagumba mu malaalo n’agookera ku kyoto n’akyonoona ng’ekigambo bwe kyali ekya Mukama omusajja wa Katonda kye yalangira eyalangira ebigambo bino. 1723:17 1 Bassek 13:1,30Awo n’ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab’omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebyo by’okoze ku kyoto eky’omu Beseri. 1823:18 1 Bassek 13:11,31N’ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n’amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya. 1923:19 2 Byom 34:6,7Era n’amasabo gonna ag’ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby’e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n’agaggyawo n’agakola ng’ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri. 2023:20 Kuv 22:20, 1 Bassek 18:40, 2 Bassek 11:18, 2 Byom 34:5N’attira bakabona bonna ab’ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n’abyokerako amagumba g’abantu; n’addayo e Yerusaalemi.
2123:21 Kuv 12:3-11, Kubal 9:2-4, Ma 16:2-8, 2 Byom 35:1-17Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’ayogera nti Mukwate Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky’endagaano. 2223:22,23 2 Byom 35:18,19Mazima tebaakwatanga Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy’abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda; 23naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi. 2423:24 Lub 31:19, Leev 19:31; 20:27, Ma 18:11, 2 Bassek 21:6; 22:8Era nate abo abaaliko emizimu n’abasawo ne baterafi n’ebifaananyi n’emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n’abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby’amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama. 2523:25 Ma 6:5, 2 Bassek 18:5Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna n’emmeeme ye yonna n’amaanyi ge gonna ng’amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n’oluvannyuma lwe tewaagolokoka n’omu eyamufaanana. 2623:26 2 Bassek 21:11; 24:3,4, Yer 5:4Era naye Mukama n’atakyuka kuleka ekiruyi kye ekingi ekyabuubuusa obusungu bwe eri Yuda olw’okusunguwaza kwonna Manase kwe yamusunguwaza. 2723:27 1 Bassek 8:29, 2 Bassek 17:18,20; 18:11; 21:13Mukama n’ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu maaso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n’ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo. 2823:28 2 Byom 35:26,27Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 2923:29-30 Balam 5:19, 2 Bassek 9:27,28, 2 Byom 35:20-24Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w’e Misiri n’atabaala kabaka w’e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n’amutabaala: n’amuttira e Megiddo bwe yamulaba. 3023:30-34 2 Byom 36:1-4Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ng’afudde ne bamuggya e Megiddo, ne bamuleeta e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe.
3123:31 2 Bassek 24:18, 1 Byom 3:15, Yer 22:11Yekoyakaazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu esatu bwe yatanula okufuga; n’afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32N’akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola. 3323:33 2 Bassek 25:6,20,21Awo Falaawoneko n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n’asalira ensi omusolo ogw’effeeza talanta kikumi n’ezaabu talanta emu. 3423:34 2 Bassek 24:17, Yer 22:11,12, Ez 19:3,4, Dan 1:7Awo Falaawoneko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n’awaanyisa erinnya lye n’amutuuma Yekoyakimu: naye n’aggyayo Yekoyakaazi; n’ajja e Misiri n’afiira eyo. 35Awo Yekoyakimu n’awa Falaawo effeeza n’ezaabu; naye n’asalira ensi ebintu okuwaayo effeeza eyo nga Falaawo bwe yalagira: yasolooza effeeza n’ezaabu ku bantu ab’omu nsi, ku buli muntu nga bwe yasalirwa ebintu, okubiwa Falaawoneko.
3623:36 2 Byom 36:5Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37N’akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola.