
16
116:1 Mat 1:9Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Peka mutabani wa Lemaliya Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda n’atanula okufuga. 216:2-4 2 Byom 28:1-4Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n’atakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitaawe. 316:3 Leev 18:21, Ma 12:31; 18:9Naye n’atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n’okuyisa n’ayisa mutabani we mu muliro ng’eby’emizizo bwe byali eby’ab’amawanga Mukama be yagoba mu maaso g’abaana ba Isiraeri. 416:4 Ma 12:2, 1 Bassek 14:23N’awangayo ssaddaaka n’ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi. 516:5 2 Bassek 15:37, 2 Byom 28:5,6Awo Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne bambuka e Yerusaalemi okulwana: ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula. 616:6 2 Bassek 14:22Mu biro ebyo Lezini kabaka w’e Busuuli mwe yakomerezaawo Obusuuli e Erasi n’agoba Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero. 716:7 2 Bassek 15:29, 2 Byom 28:16, Is 7:4Awo Akazi n’atumira Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli ababaka ng’ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko. 816:8 2 Bassek 12:18Awo Akazi n’addira ezaabu n’effeeza ezaalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by’obugagga eby’omu nnyumba ya kabaka, n’abiweereza kabaka w’e Bwasuli okuba ekirabo. 916:9 2 Byom 28:21, Am 1:5; 9:7Awo kabaka w’e Bwasuli n’amuwulira: kabaka w’e Bwasuli n’atabaala Ddamasiko n’akimenya, n’atwala abaayo nga basibe e Kiri, n’atta Lezini. 1016:10 Is 8:2Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, n’alaba ekyoto ekyali e Ddamasiko: kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona embala y’ekyoto n’engeri yaakyo ng’omulimu gwakyo gwonna bwe gwali. 11Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto: nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweereza ng’ayima e Ddamasiko bw’atyo Uliya kabona bwe yakikola kabaka Akazi akisange ng’avudde e Ddamasiko. 12Awo kabaka bwe yajja okuva e Ddamasiko, kabaka n’alaba ekyoto: kabaka n’asemberera ekyoto n’aweerayo ku kyoto ssaddaaka. 13N’ayokya ekyo kye yawaayo ekyokebwa n’ekyo kye yawaayo eky’obutta n’afuka ekyo kye yawaayo ekyokunywa, n’amansira omusaayi gw’ebyo bye yawaayo olw’emirembe ku kyoto. 14Era ekyoto eky’ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama n’akiggya mu bwenyi bw’ennyumba wakati w’ekyoto kye n’ennyumba ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiika obwa kkono olw’ekyoto kye. 1516:15 Kuv 29:39-41, Kubal 28:4Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona ng’ayogera nti Oyokeranga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya kabaka n’ekikye ekiweebwayo eky’obutta, wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’abantu bonna ab’omu nsi eyo n’ekyabwe ekiweebwayo eky’obutta n’ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangako omusaayi gwonna ogw’ekiweebwayo ekyokebwa n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka: naye ekyoto eky’ekikomo kinaabanga kya kulagulirako gye ndi. 16Bw’atyo Uliya kabona n’akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yalagira. 1716:17 1 Bassek 7:23,25,27,28,38Awo kabaka Akazi n’asalako emigo gy’entebe n’aggya ekinaabirwamu ku zo; n’assa ennyanja ng’agiggya ku nte ez’ebikomo ezaali wansi waayo, n’agiteeka ku mayinja amaaliire. 18N’ekkubo eryabikkibwako erya ssabbiiti lye baali bazimbye mu nnyumba n’omulyango gwa kabaka ebweru n’alyetoolooza ennyumba ya Mukama olwa kabaka w’e Bwasuli. 1916:19,20 2 Byom 28:26,27Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n’afuga mu kifo kye.