
8
18:1-18 1 Bassek 9:10-28Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n’ennyumba ye ye, 2ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n’abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3Awo Sulemaani n’agenda e Kamasuzoba n’akimenya. 4N’azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby’okuterekeramu bye yazimba mu Kamasi. 5Era n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n’ebisiba; 6ne Baalasi n’ebibuga byonna eby’okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge n’ebibuga eby’abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw’okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni ne mu nsi yonna ey’amatwale ge. 7Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n’Abamoli n’Abaperizi n’Abakiivi n’Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri; 8ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero. 9Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw’omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b’abaami be era abafuga amagaali ge n’abasajja be abeebagala embalaasi. 10Era bano be baali abaami abakulu aba kabaka Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu. 11Sulemaani n’ayambusa muwala wa Falaawo ng’amuggya mu kibuga kya Dawudi n’amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.
128:12 2 Byom 4:1; 15:8Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g’ekisasi, 138:13 Kubal 28:3,9,11, Ma 16:16ng’ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng’awaayo ng’ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n’emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey’emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey’ensiisira. 148:14 Kubal 18:2, 1 Byom 23:6N’agaba empalo za bakabona olw’okuweereza kwabwe ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n’awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n’okuweereza mu maaso ga bakabona, ng’ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n’abaggazi ng’empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 15Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n’Abaleevi olw’ekigambo kyonna oba olw’ebintu ebyaterekebwa. 16Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw’okussaawo emisingi gy’ennyumba ya Mukama n’okutuusa lwe yaggwa. Bw’etyo ennyumba ya Mukama n’etuusibwa ddala.
17Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale ly’ennyanja mu nsi ya Edomu. 18Kulamu n’amuweereza mu mikono gy’abaddu be ebyombo n’abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n’abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.