
33
133:1-9 2 Bassek 21:1-9Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n’ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. 233:2 2 Byom 28:3N’akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng’eby’emizizo bwe biri eby’ab’amawanga Mukama be yagoba mu maaso g’abaana ba Isiraeri. 333:3 Ma 16:21; 17:3, 2 Byom 30:14; 31:1Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n’asimbira Baali ebyoto n’akola Baasera n’asinza eggye lyonna ery’omu ggulu n’aliweereza. 433:4 2 Byom 6:6N’azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna. 533:5 2 Byom 4:9Era n’azimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez’ennyumba ya Mukama. 633:6 Ma 18:10,11, 2 Byom 28:3Era n’ayisa mu muliro abaana be mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’alaguza ebire n’aba n’eby’obulogo n’eby’obuganga: n’agendanga eri abo abaliko emizimu n’abalogo: n’akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. 7N’asimba ekifaananyi ekyole eky’esanamu kye yakola mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri we nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna: 833:8 2 Sam 7:10so sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnateekerawo bajjajjammwe; bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, amateeka gonna n’ebiragiro n’obulombolombo mu mukono gwa Musa. 9Manase n’awabya Yuda n’abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g’abaana ba Isiraeri. 1033:10 2 Bassek 21:10-15Mukama n’ayogerako ne Manase n’abantu be: naye ne batawulira. 1133:11 Ma 28:36, 2 Bassek 20:17,18, 2 Byom 36:6, Ez 19:9Mukama kyeyava abaleetako abaami b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n’amasamba, ne bamutwala e Babulooni. 1233:12 2 Byom 32:26, Luk 15:16-18Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 1333:13 2 Byom 6:36-39N’amusaba; ne yeegayirirwa ye n’awulira okwegayirira kwe n’amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n’amanya Mukama nga ye Katonda.
1433:14 2 Byom 27:3Awo oluvannyuma lw’ebyo n’azimba bbugwe ow’ebweru ku kibuga kya Dawudi ku luuyi lwa Gikoni olw’ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu mulyango ogw’ebyennyanja; ne yeetoolooza Oferi n’akigulumiza waggulu nnyo nnyini: n’ateeka abaami abazira mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera. 15N’aggyawo bakatonda ab’amawanga n’ekifaananyi mu nnyumba ya Mukama n’ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw’ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16N’azimba obuggya ekyoto kya Mukama n’aweerayo okwo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri. 1733:17 2 Byom 32:12Naye abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, naye eri Mukama Katonda waabwe yekka. 1833:18 2 Bassek 21:17Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n’okusaba kwe yasaba Katonda we n’ebigambo by’abalabi abaayogereranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, laba, byawandiikibwa mu bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri. 1933:19 2 Byom 33:3N’okusaba kwe era Katonda bwe yeegayirirwa ye n’okwonoona kwe kwonna n’okusobya kwe n’ebifo mwe yazimbira ebifo ebigulumivu n’asimba Baasera n’ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza: laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Kozayi. 2033:20 2 Bassek 21:18Awo Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu nnyumba ye ye: Amoni mutabani we n’amuddira mu bigere.
2133:21-25 2 Bassek 21:19-24Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi. 2233:22 2 Byom 33:7N’akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakolanga: Amoni n’awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna Manase kitaawe bye yakola n’abiweerezanga. 23N’ateetoowaza mu maaso ga Mukama nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza; naye Amoni oyo ne yeeyongerayongeranga okusobya. 24Abaddu be ne bamwekobaana ne bamuttira mu nnyumba ye ye. 25Naye abantu ab’omu nsi ne batta bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab’omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.