
31
131:1 Kuv 34:13, 1 Bassek 18:4Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Isiraeri yenna abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo buli muntu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe bo. 231:2 1 Byom 23:6,30,31; 24:1Awo Keezeekiya n’assaawo empalo za bakabona n’Abaleevi ng’empalo zaabwe bwe zaali, buli muntu ng’okuweereza kwe bwe kwali, bakabona era n’Abaleevi, olw’ebiweebwayo ebyokebwa n’olw’ebiweebwayo olw’emirembe, okuweerezanga n’okwebazanga n’okutendererezanga mu nzigi ez’olusiisira lwa Mukama. 331:3 Kubal 28:3—29:40, 2 Byom 35:7, Ez 45:17Era n’assaawo omugabo gwa kabaka ogw’oku bintu bye olw’ebiweebwayo ebyokebwa, olw’ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebya ssabbiiti n’eby’emyezi egyakaboneka n’eby’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama. 431:4 Kubal 18:8-24, Nek 13:10Era nate n’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n’Abaleevi, beeweeyo eri amateeka ga Mukama. 531:5 Nek 13:12Awo etteeka bwe lyalangirwa, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta bingi nnyo ebibereberye eby’eŋŋaano n’omwenge n’amafuta n’omubisi gw’enjuki n’ebibala byonna eby’omu nnimiro, n’ekitundu eky’ekkumi eky’ebintu byonna ne bakireeta, bingi nnyo. 631:6 Leev 27:32, Ma 14:28Abaana ba Isiraeri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, era nabo ne baleeta ekitundu eky’ekkumi eky’ente n’endiga, n’ekitundu eky’ekkumi eky’ebintu ebyawongebwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. 7Mu mwezi ogw’okusatu mwe baatanulira okutandika entuumo ne bazimalira mu mwezi ogw’omusanvu. 8Awo Keezeekiya n’abakulu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n’abantu be Isiraeri. 9Awo Keezeekiya n’abuuzagana ne bakabona n’Abaleevi eby’entuumo. 1031:10 Mal 3:10Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadoki n’amuddamu n’ayogera nti Abantu kasookedde batanula okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, nga tulya nga tukkuta nga tulemerwa ddala: kubanga Mukama awadde abantu be omukisa; n’ebyo ebifisseewo bye bintu bino ebyenkanidde awo. 11Awo Keezeekiya n’alyoka alagira okutegeka enju mu nnyumba ya Mukama; ne bazitegeka. 12Ne bayingiza ebitone n’ebitundu eby’ekkumi n’ebintu ebyawongebwa, n’obwesigwa: era Konaniya Omuleevi ye yali omukulu waabwe, ne Simeeyi muganda we ye yamuddirira. 13Ne Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, ne Yozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi, ne Benaya be baali abalabirizi wansi w’omukono gwa Konaniya ne Simeeyi muganda we olw’ekiragiro kya Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w’ennyumba ya Katonda. 14Ne Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yali omukulu w’ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, okugaba ebirabo bya Mukama n’ebintu ebitukuvu ennyo. 1531:15 Yos 21:9-19Era wansi w’oyo Edene ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya, Amaliya ne Sekaniya, mu bibuga bya bakabona, mu mulimu gwabwe ogwalagirwa, okuwanga baganda baabwe mu mpalo, abakulu era n’abato: 1631:16 1 Bassek 8:59obutassaako abo abaabalibwa ng’okuzaalibwa kw’abasajja bwe kwali, abaakamaze emyaka esatu n’okukirawo, buli eyayingira mu nnyumba ya Mukama, ng’ebyagwanira buli lunaku bwe byali, olw’okuweereza kwabwe mu ebyo bye baalagirwa, ng’empalo zaabwe bwe zaali; 1731:17 1 Byom 23:24,27n’abo abaabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku bakabona ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, n’Abaleevi abaakamaze emyaka amakumi abiri n’okukirawo, mu ebyo bye baalagirwa ng’empalo zaabwe bwe zaali; 18n’abo abaabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku baana baabwe bonna abato, abakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, okubuna ekibiina kyonna: kubanga beetukuza mu butukuvu mu mulimu gwabwe ogwalagirwa: 1931:19 Leev 25:34era olwa batabani ba Alooni bakabona abaali mu nnimiro ez’omu byalo eby’ebibuga byabwe, mu buli kibuga kinnakimu, mwalimu abasajja abaayatulwa amannya gaabwe okuwa emigabo abasajja bonna ab’omu bakabona n’abo bonna abaabalibwa ng’okuzaalibwa bwe kwali mu Baleevi. 20Era bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna; n’akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby’ensonga era eby’obwesigwa. 21N’omulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw’omu nnyumba ya Katonda ne mu mateeka ne mu biragiro okunoonya Katonda we n’agukola n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.