
26
126:1,2 2 Bassek 14:21,22Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n’omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya. 2N’azimba Erosi, n’akizzaayo eri Yuda, kabaka ng’amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe. 326:3,4 2 Bassek 15:2,3Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4N’akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakola. 5Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n’amulabyanga omukisa. 6Awo n’atabaala n’alwana n’Abafirisuuti n’amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne buggwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n’azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti. 726:7 1 Byom 4:41, 2 Byom 21:16Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali n’Abamewunimu. 8Abamoni ne bawanga Uzziya ebirabo: erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa awayingirirwa e Misiri; kubanga yaba n’amaanyi mangi nnyo nnyini. 926:9 Nek 3:13,19Era nate Uzziya n’azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw’oku nsonda ne ku luggi olw’omu kiwonvu ne bbugwe w’akyukira, n’abinyweza. 10N’azimba ebigo mu ddungu n’abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n’abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima. 11Era nate Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi, abaatabalanga ebibiina n’ebibiina, ng’omuwendo gw’okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w’omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka. 12Omuwendo gwonna ogw’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab’amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga. 1326:13 2 Byom 25:5Era wansi w’omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwananga n’obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe. 14Uzziya n’abategekera eggye lyonna engabo n’amafumu n’enkuffiira n’ebizibawo eby’ebyuma n’emitego n’amayinja ag’okuvuumula. 15N’akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab’amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby’okulasa obusaale n’amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi.
1626:16 2 Byom 32:25, Ez 28:2,5,17Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n’okukola n’akola eby’obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 17Azaliya kabona n’ayingira ng’amuvaako ennyuma, era wamu naye bakabona ba Mukama kinaana abasajja abazira: 1826:18 Kuv 30:7,8, Kubal 16:40; 18:7, 1 Byom 23:13ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda. 1926:19 Kubal 12:10, 2 Bassek 5:27Awo Uzziya n’asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng’asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane. 20Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n’ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza. 2126:21 Kubal 5:226:21-23 2 Bassek 15:5-7Uzziya kabaka n’abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n’abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n’abanga mukulu w’ennyumba ya kabaka, ng’alamula abantu ab’omu nsi. 2226:22 Is 1:1; 6:1Era ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, ebyasooka n’ebyamalirwako, Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi yabiwandiika. 23Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky’okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n’amuddira mu bigere.