
25
125:1-4 2 Bassek 14:1-6Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n’erinnya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. 2N’akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebigolokofu, naye si na mutima ogwatuukirira. 3Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy’ali, n’alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe. 425:4 Ma 24:1, Yer 31:30, Ez 18:20Naye n’atatta baana baabwe, naye n’akola ng’ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag’omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n’abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta. 525:5 Kubal 1:3, 2 Byom 17:14-18; 26:13Era nate Amaziya n’akuŋŋaanya Yuda, n’abateekateeka ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b’enkumi n’abaami b’ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n’ababala abaakamaze emyaka amakumi abiri n’okukirawo, n’abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n’engabo. 6Era n’agulirira abasajja ab’amaanyi abazira kasiriivu ng’abaggya mu Isiraeri, olwa talanta eza ffeeza kikumi. 7Naye ne wajja gy’ali omusajja wa Katonda ng’ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama tali wamu ne Isiraeri, tali wamu n’abaana bonna aba Efulayimu. 825:8 1 Sam 14:6, 2 Byom 14:11; 20:6Naye bw’onooyagala okugenda, kola eby’obuzira, beera n’amaanyi olw’olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g’abalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n’okumegga. 9Awo Amaziya n’agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n’addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo. 10Awo Amaziya n’abaawulamu, eggye eryali lizze gy’ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi. 1125:11 2 Bassek 14:7Awo Amaziya n’aguma omwoyo n’atabaaza abantu be n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta ku baana ab’oku Seyiri kakumi. 12Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly’olwazi, n’okumenyeka ne bamenyeka. 1325:13 2 Byom 15:8; 19:4Naye abasajja ab’omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi.
14Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng’asse Abaedomu, n’aleeta bakatonda b’abaana ab’oku Seyiri, n’abasimba okuba bakatonda be, n’avuunama mu maaso gaabwe n’abootereza obubaane. 15Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n’amutumira nnabbi n’amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b’abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo? 16Awo olwatuuka bwe yali ng’ayogera naye kabaka n’amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n’alekera awo n’ayogera nti Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n’otowulira kuteesa kwange.
17Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n’ateesa ebigambo n’atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng’ayogera nti Jjangu tulabagane n’amaaso. 18Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n’atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng’ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey’omu nsiko eyali ku Lebanooni n’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 19Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n’omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n’ofiirwa, n’ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe? 20Naye Amaziya n’atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw’abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu. 21Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n’atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n’amaaso e Besusemesi ekya Yuda. 22Yuda n’agobebwa mu maaso ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye. 23Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw’oku nsonda, emikono ebikumi bina. 24N’anyaga ezaabu n’effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n’eby’obugagga eby’omu nnyumba ya kabaka, era n’emisingo nabo, n’addayo e Samaliya.
2525:25-28 2 Bassek 14:17-20Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka kkumi n’etaano Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng’amaze okufa. 26Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n’ebyamalirwako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri? 27Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n’addukira e Lakisi: naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo. 28Ne bamuleetera ku mbalaasi, ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.