
21
121:1 1 Bassek 22:50Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajja be n’aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n’afuga mu kifo kye. 2Era yalina ab’oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri. 3Kitaabwe n’abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n’ebintu eby’omuwendo omungi, n’ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye. 421:4 Balam 9:5Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n’alyoka atta baganda be bonna n’ekitala n’abamu ab’oku bakulu ba Isiraeri. 521:5-10 2 Bassek 8:17-22, 2 Byom 21:20Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 621:6 1 Bassek 16:31-33, 2 Bassek 8:18N’atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng’ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n’akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 721:7 1 Bassek 11:36Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw’endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n’abaana be emirembe gyonna. 8Ku mirembe gye Edomu n’ajeema okuva wansi w’omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka. 9Awo Yekolaamu n’asomoka n’abaami be n’amagaali ge gonna wamu naye: n’agolokoka kiro n’akuba Abaedomu abaamuzingiza, n’abaami b’amagaali. 10Awo Edomu n’ajeema okuva wansi w’omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n’ajeema mu biro ebyo wansi w’omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe. 1121:11 Kuv 34:16Era nate n’akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n’ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n’akyamya Yuda. 1221:12 1 Bassek 17:1, 2 Byom 14:2-5; 17:3Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda; 1321:13 1 Bassek 12:28-30, 2 Byom 21:4naye n’otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n’oyenza Yuda n’ababeera mu Yerusaalemi, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola; era n’okutta watta baganda bo ab’omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi: 14laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n’abaana bo ne bakazi bo n’ebintu byo byonna: 15naawe oliba n’endwadde nnyingi ebyenda byo nga birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw’endwadde eya buli lunaku. 1621:16 2 Byom 17:11; 22:1Awo Mukama n’akubiriza omwoyo gw’Abafirisuuti eri Yekolaamu, n’ogw’Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya: 1721:17 2 Byom 22:1,6; 25:23ne batabaala Yuda, ne bakiwangula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n’omu wabula Yekoyakaazi omuto ow’oku baana be. 18Awo oluvannyuma lw’ebyo byonna Mukama n’amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka. 1921:19 2 Byom 16:14, Bik 1:18Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw’endwadde ye n’afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng’okunyookeza kwa bajjajjaabe. 2021:20 2 Bassek 8:24, 2 Byom 21:5; 24:25; 28:27, Yer 22:18Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n’agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.