
18
118:1 2 Byom 17:5; 21:6Era Yekosafaati yalina obugagga n’ekitiibwa kingi nnyo nnyini; n’afuuka mukoddomi wa Akabu. 218:2-34 1 Bassek 22:2-35Awo emyaka bwe gyayitawo n’aserengeta eri Akabu e Samaliya. Akabu n’amuttira endiga n’ente nnyingi nnyo, ye n’abantu abaali naye, n’amusemberera okutabaala e Lamosugireyaadi (wamu naye). 3Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n’agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n’amuddamu nti Nze ninga ggwe bw’oli, n’abantu bange ng’abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo. 4Awo Yekosafaati n’agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero. 5Awo kabaka wa Isiraeri n’akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n’abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka. 6Naye Yekosafaati n’ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuzeeko? 7Kabaka wa Isiraeri n’agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama: naye mmukyawa; kubanga tandagulangako birungi wabula ebibi ebyereere; oyo ye Mikaaya mutabani wa Imula. Yekosafaati n’ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw’atyo. 8Awo kabaka wa Isiraeri n’ayita omumbowa n’ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula. 9Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe. 10Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag’ebyuma n’ayogera nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo. 11Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. 12Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n’amugamba nti Laba, ebigambo bya bannabbi bimubuulira kabaka ebirungi n’akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky’omu ku bo, oyogere ebirungi. 1318:13 Kubal 24:13Awo Mikaaya n’ayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu, Katonda wange ky’anaagamba, ekyo kye nnaayogera. 14Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n’amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N’ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe. 15Awo kabaka n’amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n’ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama? 16N’ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng’asaasaanidde ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba: Mukama n’ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe. 17Awo kabaka wa Isiraeri n’agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi? 18N’ayogera nti Kale muwulire ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng’atudde ku ntebe ye n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 19Mukama n’ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri ayambuke e Lamosugireyaadi agwe? Omu n’ayogera bw’atyo; omulala n’ayogera bw’atyo. 20Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze naamusendasenda. Mukama n’agugamba nti Otya? 21Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N’ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n’okusobola onoosobola: fuluma okole bw’otyo. 22Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano; era Mukama akwogeddeko akabi. 23Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’amukuba Mikaaya ku matama, n’ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe? 24Mikaaya n’ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw’oliyingira mu kisenge eky’omunda okwekweka. 25Awo kabaka wa Isiraeri n’ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w’ekibuga n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka; 26mwogere nti Bw’atyo bw’ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey’okulaba ennaku n’amazzi ag’okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe. 27Awo Mikaaya n’ayogera nti Okukomawo bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N’ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.
28Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 29Kabaka wa Isiraeri n’agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo. 30Awo kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaami b’amagaali ge ng’ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka. 31Awo olwatuuka abaami b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n’ayogerera waggulu, Mukama n’amuyamba; Katonda n’abamuggyako. 32Awo olwatuuka abaami b’amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne bakomawo okumugoberera. 33Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde, n’alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w’eggali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo. 34Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n’Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.