
15
115:1 Kubal 24:2, 1 Sam 10:6, 2 Bassek 20:14; 24:20Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi: 215:2 1 Byom 28:9, 2 Byom 24:20, Yer 29:13, Yak 4:8n’afuluma okusisinkana Asa n’amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe. 315:3 2 Byom 17:8,9; 35:3, Kos 4:6Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow’amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka: 415:4 Ma 4:29naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba. 5Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo. 615:6 Mak 13:8Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n’ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng’abalabya ennaku zonna. 715:7 Yos 1:6,7,9, Zab 62:12, Is 7:4, Yer 31:16Naye mubenga n’amaanyi, so n’emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu gwammwe guliweebwa empeera. 815:8 2 Byom 8:12; 15:1; 17:2Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n’aguma omwoyo n’aggyawo eby’emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey’ensozi eya Efulayimu; n’azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi kya Mukama. 915:9 2 Byom 11:16N’akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n’abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye. 10Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw’okusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’okufuga kwa Asa. 1115:11 2 Byom 14:13-15Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n’endiga kasanvu. 1215:12 2 Byom 29:10; 34:31, Nek 10:29Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna; 1315:13 Ma 13:6-9; 17:2-5era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi. 14Ne balayirira Mukama n’eddoboozi ddene n’okwogerera waggulu n’amakondeere n’eŋŋombe. 1515:15 2 Byom 14:7Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n’okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n’abawa okuwummula enjuyi zonna.
1615:16 Kuv 34:1315:16-18 1 Bassek 15:13-15Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n’amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky’omuzizo okuba Asera; Asa n’atema ekifaananyi kye n’akifuula enfuufu n’akyokera ku kagga Kidulooni. 1715:17 2 Byom 14:3,5Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo mu Isiraeri: naye omutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna. 18N’ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n’ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n’ezaabu n’ebintu. 1915:19 1 Bassek 15:16,32Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw’asatu mu etaano ogwa Asa.