
14
114:1 1 Bassek 15:8Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n’afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n’etereerera emyaka kkumi. 214:2 1 Bassek 15:11Asa n’akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby’ensonga: 314:3 Kuv 34:13, 1 Bassek 15:13,14, 2 Byom 15:17kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n’ebifo ebigulumivu n’amenya empagi n’atemaatema ba Asera; 4n’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’okukwata amateeka n’ekiragiro. 514:5 Leev 26:30, 2 Byom 34:4,7, Ez 6:4,6Era n’aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi by’enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge. 614:6,7 2 Byom 15:15N’azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula. 7Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n’ebigo, enzigi n’ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa. 814:8 2 Byom 13:8Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n’amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n’abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira. 9Zeera Omwesiyopya n’abatabaala ng’alina eggye kakadde n’amagaali ebikumi bisatu; n’ajja e Malesa. 10Awo Asa n’afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa. 1114:11 Kuv 14:10, 1 Sam 17:45, 2 Byom 13:14,18, Zab 22:5Asa n’akaabira Mukama Katonda we n’ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w’abalina (abalwanyi) abangi, n’abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga. 1214:12 2 Byom 13:15Awo Mukama n’akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka. 13Asa n’abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n’okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo. 1414:14 2 Byom 17:10; 20:29Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi. 15Era ne bakuba eweema ez’ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n’eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.