
13
113:1,2 1 Bassek 15:1,2Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogwa kabaka Yerobowaamu Abiya n’atanula okufuga Yuda. 213:2 1 Bassek 15:7, 2 Byom 11:20N’afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n’erinnya lya nnyina lyali Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow’e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu. 3Abiya n’alumba ng’alina eggye ery’abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n’asimba ennyiriri okulwana naye ng’alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab’amaanyi abazira. 4Abiya n’ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu n’ayogera nti Mumpulire, mmwe Yerobowaamu ne Isiraeri yenna; 513:5 Leev 2:13, Kubal 18:19, 2 Sam 7:12,13,16, Zab 89:3,4temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyonna, ye ne batabani be n’endagaano ey’omunnyo? 613:6 1 Bassek 11:26; 12:19,20Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi n’agolokoka n’ajeemera mukama we. 713:7 2 Sam 20:1, 2 Byom 12:13Ne wakuŋŋaana gy’ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng’akyali muto n’omutima gwe nga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza. 813:8 1 Bassek 12:28Awo kaakano mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwa batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda. 913:9 2 Byom 11:14,15, Kos 8:6Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n’Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng’empisa bw’eri ey’amawanga ag’omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng’alina ente ento n’endiga ennune musanvu, oyo ayinza okuba kabona w’abo abatali bakatonda. 10Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni n’Abaleevi, mu mulimu gwabwe: 1113:11 Kuv 25:31-39, 2 Byom 2:4era bookya eri Mukama buli nkya na buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obuwoomerevu: n’emigaati egy’okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n’ekikondo ekya zaabu n’ettabaaza zaakyo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako. 1213:12 Kubal 10:9, Yob 9:4, Bik 5:39Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be nga balina amakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa. 13Naye Yerobowaamu n’abafulumya ennyuma abateezi: awo ne baba mu maaso ga Yuda, abateezi ne baba ennyuma waabwe. 1413:14,15 2 Byom 14:11,12Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n’ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere. 15Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n’akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 1613:16 2 Byom 16:8Abaana ba Isiraeri ne badduka mu maaso ga Yuda: Katonda n’abagabula mu mukono gwabwe. 17Abiya n’abantu be ne babatta olutta olunene: n’okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano. 18Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 1913:19 2 Byom 15:8Abiya n’ayigganya Yerobowaamu, n’amuggyako ebibuga, Beseri n’ebibuga byako, ne Yesana n’ebibuga byako, ne Efulooni n’ebibuga byako. 2013:20 1 Sam 25:38, 1 Bassek 14:20So Yerobowaamu teyafuna nate amaanyi ku mirembe gya Abiya: Mukama n’amulwaza n’afa. 21Naye Abiya n’afuuka ow’amaanyi, n’awasa abakazi kkumi na bana n’azaala abaana ab’obulenzi amakumi abiri mu babiri n’ab’obuwala kkumi na mukaaga. 2213:22 2 Byom 9:29Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n’amakubo ge n’ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo.