
5
15:1 Yos 13:3, 1 Sam 4:1; 7:12Awo Abafirisuuti baali banyaze essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi. 25:2 Balam 16:23Abafirisuuti ne baddira essanduuko ya Katonda ne bagireeta mu ssabo ya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni. 35:3 Is 46:1,2Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng’agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye. 45:4 Yer 50:2, Ez 6:4,6, Mi 1:7Awo bwe baagolokoka olw’okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng’agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama; n’omutwe gwa Dagoni n’ebibatu byombi eby’emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusigalirawo kyokka. 55:5 Zef 1:9Bakabona ba Dagoni kyebaava balema okulinnya ku mulyango gwa Dagoni mu Asudodi na buli kati, newakubadde omuntu yenna ayingira mu nnyumba ya Dagoni.
65:6 Kuv 9:3, 1 Sam 6:5, Zab 32:4, Bik 13:11Naye omukono gwa Mukama ne gubazitoowerera Abasudodi, n’abazikiriza, n’abalwaza ebizimba, Asudodi era n’ensalo zaakyo. 7Awo Abasudodi bwe baalaba nga kyali bwe kityo, ne boogera nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri teribeera naffe: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waffe. 85:8 Yos 13:3Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya gye bali abaami bonna ab’Abafirisuuti ne boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri? Ne baddamu nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri etambuzibwe okutuusa e Gaasi. Ne batambuza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri. 95:9 Ma 2:15, 1 Sam 6:5; 7:13Awo olwatuuka, bwe baamala okugitambuza, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ne gubakeŋŋentereza nnyo nnyini: n’alwaza ab’omu kibuga, abato n’abakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku bo. 10Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda okugenda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yatuuka e Ekuloni, Abaekuloni ne boogerera waggulu nga boogera nti Batambuzizza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri ne bagituusa gye tuli, okututta n’abantu baffe. 11Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab’Abafirisuuti ne boogera nti Musindike essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, eddeyo mu kifo kyayo, ereme okututta n’abantu baffe: kubanga okukeŋŋenterera okw’okufa kwabuna ekibuga kyonna; omukono gwa Katonda gwazitowa nnyo eyo. 125:12 1 Sam 6:5N’abo abataafa ne balwala ebizimba: okukaaba kw’ekibuga ne kulinnya mu ggulu.