
8
18:1-5 Kubal 26:38-40, 1 Byom 7:6-8Ne Benyamini n’azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow’okubiri, ne Akala ow’okusatu; 2Noka ow’okuna, ne Lafa ow’okutaano. 3Ne Bera yalina batabani be, Addali, ne Gera, ne Abikudi; 4ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa; 5ne Gera, ne Sefufani, ne Kulamu. 6Era bano be batabani ba Ekudi: gino gye mitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe ez’abo abaali mu Geba, ne babatwala e Manakasi nga basibe: 7ne Naamani ne Akiya ne Gera n’abatwala nga basibe; n’azaala Uzza ne Akikudi. 8Sakalayimu n’azaala abaana mu nnimiro ya Mowaabu bwe yamala okubasindika; Kusimu ne Baala be baali bakazi be. 9N’azaala mu Kodesi mukazi we Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu; 10ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali batabani be, emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe. 11N’azaala mu Kusimu Abitubu ne Erupaali. 12Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n’ebibuga byako: 13ne Beriya ne Sema, emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe ez’abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi; 14ne Akiyo, Sasaki, ne Yeremosi; 15ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi; 16ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, batabani ba Beriya; 17ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi; 18ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali; 19ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi; 20ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri; 21ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi, batabani ba Simeeyi; 22ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri; 23ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani; 24ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya; 25ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki; 26ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya; 27ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, batabani ba Yerokamu. 28Abo be baali emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe okubuna emirembe gyabwe, abasajja abakulu: abo baabeeranga mu Yerusaalemi. 298:29-32 1 Byom 9:35-38Era kitaawe wa Gibyoni n’abeeranga mu Gibyoni, Yeyeri, mukazi we erinnya lye Maaka: 30ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu; 31ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri. 32Mikuloosi n’azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe. 338:33 1 Sam 9:1; 14:51; 31:2, 1 Byom 10:28:33-38 1 Byom 9:39-44Neeri n’azaala Kiisi; Kiisi n’azaala Sawulo; Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali. 348:34 2 Sam 4:4; 9:12Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n’azaala Mikka. 35Ne batabani ba Mikka Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi. 36Akazi n’azaala Yekoyaada; Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n’azaala Moza: 37ne Moza n’azaala Bineya; Lafa ye yali mutabani we, Ereyasa mutabani we, Azeri mutabani we: 38Azeri n’azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri. 39Ne batabani ba Eseki muganda we; Ulamu omubereberye we, Yewusi ow’okubiri, ne Erifereti ow’okusatu. 408:40 1 Byom 12:2, 2 Byom 14:8Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab’amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n’abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini.