
7
17:1 Lub 46:13, Kubal 26:23-25N’ebyaggibwa ku batabani ba Isakaali; Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simuloni, bina. 27:2 2 Sam 24:1,2,9Ne batabani ba Tola; Uzzi ne Lefaya, ne Yeryeri, ne Yamayi, ne Ibusamu, ne Semweri, emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe, aba Tola; abasajja ab’amaanyi abazira mu mirembe gyabwe: ku mirembe gya Dawudi omuwendo gwabwe gwali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. 3Ne batabani ba Uzzi; Izulakiya: ne batabani ba Izulakiya; Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri, Issiya, bataano: bonna basajja bakulu. 4Era ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, ng’ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, ebibiina by’omu ggye byali wamu nabo olw’okulwana, obukumi busatu mu kakaaga: kubanga baalina abakazi bangi n’abaana bangi. 5Ne baganda baabwe bonna, ab’omu luggya lwa Isakaali, nga babalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, abasajja ab’amaanyi abazira, baali obukumi munaana mu kasanvu.
67:6 Lub 46:21, Kubal 26:38-41, 1 Byom 8:1-40Batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Yediyayeri, basatu. 7Ne batabani ba Bera; Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi, ne Iri, bataano; emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab’amaanyi abazira; era baabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana. 8Ne batabani ba Bekeri; Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi, ne Alemesi. Abo bonna baali batabani ba Bekeri. 9Era baabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab’amaanyi abazira, obukumi bubiri mu ebikumi bibiri. 10Ne batabani ba Yediyayeri; Birukani; ne batabani ba Birukani; Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi, ne Akisakali. 11Abo bonna baali baana ba Yediyayeri, ng’emitwe gy’ennyumba za bajjajjaabwe bwe gyali, abasajja ab’amaanyi abazira, kakumi mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abayinza okutabaala mu ggye okulwana. 12Suppimu naye, ne Kuppimu, batabani ba Iri, Kusimu, batabani ba Akeri.
13Batabani ba Nafutaali; Yaziyeri, ne Guni, ne Yazeri, ne Sallumu, batabani ba Biruka.
147:14-19 Kubal 26:29-33, Yos 17:1Batabani ba Manase; Asuliyeri mukazi we gwe yazaala: (muzaana we Omwalamu yazaala Makiri kitaawe wa Gireyaadi: 157:15 Kubal 27:1; 36:11, Yos 17:3Makiri n’awasa omukazi ow’oku Kuppimu ne Suppimu, erinnya lya muganda we Maaka;) n’erinnya ly’ow’okubiri lyali Zerofekadi: Zerofekadi n’azaala abaana ba buwala. 16Maaka muka Makiri n’azaala omwana ow’obulenzi, n’amutuuma erinnya lye Peresi; n’erinnya lya muganda we lyali Seresi; ne batabani ba Ulamu; ne Lakemu. 17Ne batabani ba Ulamu; Bedani. Abo be baali batabani ba Gireyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. 187:18 Balam 6:34Ne mwannyina Kammolekesi n’azaala Isukodi, ne Abiezeri, ne Makula. 19Ne batabani ba Semida ye Akyani, ne Sekemu, ne Liki, ne Aniyamu.
207:20 Kubal 26:35Ne batabani ba Efulayimu; Susera, ne Beredi mutabani we, ne Takasi mutabani we, ne Ereyadda mutabani we, ne Takasi mutabani we, 21ne Zabadi mutabani we, ne Susera mutabani we, ne Ezeri, ne Ereyaddi, abasajja ab’e Gaasi abaazaalibwa mu nsi be batta, kubanga baaserengeta okubaggyako ebisibo byabwe. 22Efulayimu kitaabwe n’akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza. 23N’ayingira eri mukazi we n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi, n’amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab’omu nnyumba ye baalaba akabi. 24Ne muwala we yali Seera, eyazimba Besukoloni ekya wansi n’eky’engulu, ne Uzzenuseera. 25Ne Leefa ye yali mutabani we, ne Lesefu, ne Teera mutabani we, ne Takani mutabani we; 267:26 Kubal 1:10; 7:48Ladani mutabani we, Ammikudi mutabani we, Erisaama mutabani we; 277:27 Kuv 33:11, Kubal 13:8,16Nuni mutabani we, Yoswa mutabani we. 28N’ebifo byabwe bye baalya era bye baabeerangamu bye bino; Beseri n’ebibuga byako, n’ebuvanjuba Naalani, n’ebugvanjuba Gezeri, n’ebibuga byako; era ne Sekemu n’ebibuga byako, okutuusa ku Azza n’ebibuga byako: 297:29 Yos 17:7,11n’awali ensalo ez’abaana ba Manase Besuseyani n’ebibuga byako, Taanaki n’ebibuga byako, Megiddo n’ebibuga byako, Doli n’ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
307:30,31 Lub 46:17, Kubal 26:44-46Batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya; ne Seera mwannyinaabwe. 31Ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri, ye kitaawe wa Biruzayisi. 32Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu, ne Suwa, mwannyinaabwe. 33Ne batabani ba Yafuleti; Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. Abo be baana ba Yafuleti. 34Ne batabani ba Semeri: Aki, ne Loga, Yekubba, ne Alamu. 35Ne batabani ba Keremu muganda we; Zofa, ne Imuna, ne Seresi, ne Amali. 36Batabani ba Zofa; Suwa, ne Kaluneferi, ne Swali, ne Beri, ne Imula; 37Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani, ne Beera. 38Ne batabani ba Yeseri; Yefune, Pisupa, ne Ala. 39Ne batabani ba Ulla; Ala, ne Kanyeri, ne Liziya. 40Abo bonna baali baana ba Aseri, emitwe gy’ennyumba za bajjajja baabwe, abasajja abazira abalonde ab’amaanyi, ab’olubereberye mu bakulu. N’omuwendo gwabwe ogwabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, olw’okukola omulimu ogw’okulwana, gwali abasajja obukumi bubiri mu kakaaga.