
27
1Awo abaana ba Isiraeri ng’omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe n’abaami b’enkumi n’ab’ebikumi n’abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky’empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy’omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya. 227:2 1 Byom 11:11Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w’oluwalo olw’olubereberye olw’omu mwezi ogw’olubereberye: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 327:3 Kubal 26:20Oyo yali wa ku baana ba Pereezi, omukulu w’abaami bonna ab’eggye mu mwezi ogw’olubereberye. 427:4 2 Sam 23:9, 1 Byom 11:12Ne Dodayi Omwakowa n’oluwalo lwe ye yali omukulu w’oluwalo olw’omwezi ogw’okubiri; ne Mikuloosi omukungu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 527:5,6 23:20-23, 1 Byom 11:22-25Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow’okusatu ow’eggye ow’omu mwezi ogw’okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 6Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow’amaanyi ow’oku abo amakumi asatu, era omukulu w’abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe. 727:7 2 Sam 2:18; 23:24, 1 Byom 11:26Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow’okuna ow’omu mwezi ogw’okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 827:8 2 Sam 23:25, 1 Byom 11:27Samukusi Omuyizula ye yali omwami ow’okutaano ow’omu mwezi ogw’okutaano: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 927:9 2 Sam 23:26, 1 Byom 11:27Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omwami ow’omukaaga ow’omu mwezi ogw’omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1027:10 2 Sam 23:26Kerezi Omuperoni ow’oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow’omusanvu ow’omu mwezi ogw’omusanvu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1127:11 2 Sam 21:18, 1 Byom 11:29; 20:4Sibbekayi Omukusasi ow’oku Bazera ye yali omwami ow’omunaana ow’omu mwezi ogw’omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1227:12 2 Sam 23:27, 1 Byom 11:28Abiyezeeri Omwanasosi ow’oku Babenyamini ye yali omwami ow’omwenda ow’omu mwezi ogw’omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1327:13 2 Sam 23:28, 1 Byom 11:30Makalayi Omunetofa ow’oku Bazera ye yali omwami ow’ekkumi ow’omu mwezi ogw’ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1427:14 2 Sam 23:30, 1 Byom 11:31Benaya Omupirasoni ow’oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow’ekkumi n’omu ow’omu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya. 1527:15 Balam 1:13; 3:9, 2 Sam 23:29, 1 Byom 4:13; 11:13; 11:30Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omwami ow’ekkumi n’ababiri ow’omu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
16Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyoni Sefatiya mutabani wa Maaka: 1727:17 1 Byom 24:3ku Leevi Kasabiya mutabani wa Kemweri: ku Alooni Zadoki: 18ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri: 19ku Zebbulooni Isumaaya mutabani wa Obadiya: ku Nafutaali Yeremosi mutabani wa Azuliyeeri: 20ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky’ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya: 21ku kitundu ky’ekika kya Manase mu Gireyaadi Iddo mutabani wa Zekkaliya: ku Benyamini Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri: 2227:22 1 Byom 28:1ku Ddaani Azaleeri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abaami b’ebika bya Isiraeri. 2327:23 Lub 15:5Naye Dawudi n’atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n’abatannaba kutuusa egyo, kubanga Mukama yali ayogedde ng’alyongera Isiraeri ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 2427:24 1 Byom 21:5-7Yowaabu mutabani wa Zeruyiya yatanula okubala, naye n’atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n’omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag’oku ttale n’ag’omu bibuga n’ag’omu byalo n’agomu bigo: 26ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w’abo abaakola emirimu egy’omu nnimiro olw’okulima ettaka: 27ne Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w’ensuku z’emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w’ebibala eby’ensuku olw’amasenero ag’omwenge: 28ne Baalukanani Omugedera ye yali omukulu w’emizeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w’amawanika g’amafuta: 29ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w’ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w’ebisibo ebyali mu biwonvu: 30ne Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu w’eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu w’endogoyi: 31ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w’embuzi. Abo bonna be baali abakulu b’ebintu ebya kabaka Dawudi.
32Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n’abaana ba kabaka: 3327:33 2 Sam 15:12,37ne Akisoferi ye yateesanga ebigambo bya kabaka: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka: 3427:34 1 Byom 1:7, 1 Sam 11:6; 27:5Yekoyaada mutabani wa Benaya n’addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w’eggye lya kabaka.