
25
125:1 1 Bassek 3:15, 1 Byom 6:33,39; 15:16; 16:41, Nek 12:27Era nate Dawudi n’abaami b’eggye ne baawulira okuweereza okwo abamu ku batabani ba Asafu n’aba Kemani n’aba Yedusuni, ab’okulagula n’ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa: n’omuwendo gwabo abaakola omulimu ng’okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti: 2ku batabani ba Asafu; Zakkuli ne Yusufu ne Nesaniya ne Asalera, batabani ba Asafu; wansi w’omukono gwa Asafu eyalagulanga ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali. 3Ku Yedusuni: batabani ba Yedusuni; Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Kasabiya ne Mattisiya, mukaaga; wansi w’emikono gya kitaabwe Yedusuni nga balina ennanga, abaalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama. 4Ku Kemani; batabani ba Kemani; Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, ne Yerimoosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, ne Lomamutyezeri, Yosubekasa, Mallosi, Kosiri, Makaziyoosi: 525:5 2 Sam 24:11abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, okuyimusanga ejjembe. Katonda n’awa Kemani abaana ab’obulenzi kkumi na bana n’ab’obuwala basatu. 625:6 1 Byom 15:16, Nek 12:27Abo bonna baabanga wansi w’emikono gya kitaabwe okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n’ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda; Asafu, Yedusuni, ne Kemani nga bali wansi w’ekiragiro kya kabaka. 725:7 1 Byom 23:5N’omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa okuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. 8Ne bakubira ebyo bye baateresebwa obululu bonna okwenkana, abato era n’abakulu, omuyigiriza era n’omuyigirizwa. 9Awo akalulu ak’olubereberye ne kamugwako Yusufu olwa Asafu: ak’okubiri Gedaliya; ye ne baganda be ne batabani be baali kkumi na babiri: 10ak’okusatu Zakkuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 11ak’okuna Izuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 12ak’okutaano Nesaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 13ak’omukaaga Bukkiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 14ak’omusanvu Yesalera, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 15ak’omunaana Yesaya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 16ak’omwenda Mattaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 17ak’ekkumi Simeeyi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 18ak’ekkumi n’akamu Azaleeri, batabani be ne baganda be kkumi na babiri: 19ak’ekkumi n’obubiri Kasabiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 20ak’ekkumi n’obusatu, Subayeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 21ak’ekkumi n’obuna Mattisiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 22ak’ekkumi n’obutaano Yeremoosi, batabani be be baganda be, kkumi na babiri: 23ak’ekkumi n’omukaaga Kananiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 24ak’ekkumi n’omusanvu Yosubekasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 25ak’ekkumi n’omunaana Kanani, batabani be ne baganda be kkumi na babiri: 26ak’ekkumi n’omwenda Mallosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 27ak’amakumi abiri Eriyaasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 28ak’abiri mu kamu Kosiri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 29ak’abiri mu bubiri Giddaluti, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 30ak’abiri mu busatu Makaziyoosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri: 31ak’abiri mu buna Lomamutyezeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri.